TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannansi beesiga bakulembeze ba ku byalo okutuusa ebirowoozo byabwe mu boobuyinza

Bannansi beesiga bakulembeze ba ku byalo okutuusa ebirowoozo byabwe mu boobuyinza

Added 13th November 2019

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera kubayamba wabula ddembe lyabwe ery’obwebange.

 Marie Nannyanzi owa Twaweza

Marie Nannyanzi owa Twaweza

Yagambye nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti abakozi ba gavumenti bangi tebakimanyi nti munnansi ateekwa okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga.

"Ebiteeso kabinenti by'eyisa bannansi bateekwa okubimanya naye okunoonyereza kuzudde nti olumu abantu bennyini tebayayaanira kumanya olumu ne balemesebwa" Polof. Kizza bwe yaggumizza.

Yasinzidde ku Hotel Africana nga Twaweza Uganda batongoza lipooti ku kunoonyereza kwe bakoze ku ngeri bannansi gye baweebwamu amawulire agafa mu gavumenti oba okutuusa ensonga zaabwe eri aboobuyinza.

Okunoonyereza kwakoleddwa mu bantu 1,872 okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo. Kwatandika mu December 2018 okutuuka March 2019.

Marie Nannyanzi owa Twaweza yategeezezza nti bagenda mu bitundu eby'enjawulo ne balondayo amaka. Babawa essimu ey'omungalo n'okubateekerayo soola okusobola okubeera nga bawuliziganya.

Okunoonyereza okulala kwakoleddwa mu bakozi ba gavumenti 62 okuva mu disitulikiti 4 okuli Buikwe, Kamuli, Hoima ne Kole. Wano Twaweza yakwatagana ne Makerere University era Polof. Kizza weyajjidde.

Bye bazudde biraga nti ku buli bantu bana 4, abasatu basing kwagala kutikka bakulembeze babawe ab'okukyalo okutuusa ebirowoozo byabwe eri aboobuyinza, bano bakola ebitundu 73 ku 100.

Abalala ebitundu 43 ku 100 baagala kubiyisa mu bakulembeze ba gavumenti z'ebitundu ate 33 ku buli 100 baagala kukozesa nkiiko za bibuga ebibatwala okutuusa eddoboozi lyabwe.

 

Buli bantu 5 osangako babiri abeetaba mu nkiiko z'ebyalo era babuuza ebibuuzo oba okutusaayo ensonga ez'enjawulo ezibakwatako mu kitundu. Enkiiko zino mwe bafunira okumisa okuwuliza ebifa mu gavumenti n'okwogerako n'abakungu ba gavumenti.

Abantu basing kwesiga bakulembeze baabwe ku gavumenti z'ebitundu okukola ku nsonga zabwe okusinga abali ku mutendera gw'eggwanga nga Baminsita oba ababaka ba palamenti. Abantu 58 ku 100 bagamba bakisanga kyangu okusisinka abakulembeze ku mutendera gwa waggulu.

Nannyanzi yategeezezza nti okunoonyereza kulaga nti bannansi bangi si bamativu kunaga tebaweebwa mukisa kuwa birowoozo ku kuteekerateekera eggwanga n'okukola embalirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...