TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Added 13th November 2019

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

 Nyanzi ng’ateeka emmwaanyi mu kyuma ekizikamulamu butto bwe yabadde mu musomo gwa Sundowner.

Nyanzi ng’ateeka emmwaanyi mu kyuma ekizikamulamu butto bwe yabadde mu musomo gwa Sundowner.

ABAABADDE mu musomo gwaffe ogwa ‘The Great Sundowner' mwakirabye bulungi nti, emmwaanyi osobola okukamulamu butto. Era hhenda nnyongera okukulambululira biki ebyaliyo naawe oyongere okwefumiitiriza oba oli awo olibaako ky'otandika ne weefuniramu ensimbi.

Kino okukikola kyangu, kubanga oginoga nga mbisi n'ogyanika n'etuuka ku bitundu 10 ku 100 eby'amazzi olwo n'olyoka ogiteeka mu kyuma ekigikamulamu butto. Ekyuma ekikamulamu butto kitandikira ku bukadde butaano, waliwo eky'obukadde 15 nga kino ekirungi ekikiriko kisobola okweggyirako akakuta n'oluvannyuma ne kikamula so ng'ekigula obukadde obutaano ggwe asooka okukiggyirako akakuta.

Ssinga okamula emmwaanyi, kkiro 100 zivaamu liita 20 eza butto ate buli liita tugigula emitwalo 20, ekitegeeza nti kkiro 100 ozifunamu obukadde buna. Jjukira nti, Abazungu emmwaanyi bazeetaaga naddala mu biseera nga bino eby'obutiti anti zirimu ekirungo kya ‘Caffeine' ekibayamba okutambuza omusaayi ne bayita bulungi mu butiti.

EMIGASO GYA BUTTO W'EMMWAANYI

1Aleeta mangu ssente kubanga ogenda kuzinoga mangu ate oleme kutunda kibooko akuseeza.

2 Eri abantu abalina ebirowoozo, acamula obwongo n'okuyamba omusaayi okutambula n'otobeera munyiikaavu kuba olumu buvaako omuntu okwetuga.

3 Ku baana abasoma, abayamba okubeera n'obwongo obwogi ne Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde

4 bw'ozikamulamu butto basobola okutegeera bye basoma.

4 Olw'okubeera n'ekirungo kya ‘Cafestol', ayamba omusaayi okutambula omubiri ne gutakola butwa bwa ‘Lactic acid' obuleetera omuntu okukoowa amangu n'ebinywa okwesiba. Bannabyamizannyo omuli abaddusi abakolera kubanga abawa amaanyi.

5 Ku bakyala abatatereeza nnaku zaabwe mu nsonga, nga ku mulundi guno gutereera ate oguddako ne gutatereera asobola okutereeza ennaku zaabwe.

6 Olw'okutambuza obulungi omusaayi, kireetera omuntu okufuna obulungi empewo ennungi n'abeera ng'assa bulungi n'atatawaanyizibwa asima. N'abamulina abayamba.

7 Abakyala abaagala okwerungiya, oddira akajiiko ka sukaali n'ogattamu amatondo 10 aga butto w'emmwaanyi n'okola ‘Coffee Scrub' azigula olususu.

8 Alimu ekirungo kya ‘Anti oxidants' ekiyamba okwoza ekibumba naddala abo abanywa omwenge. Era ayoza n'ensigo.

9 Ayamba okutambuza ‘insulin' mu mubiri ekirungo ekiyamba okutereeza sukaali mu mubiri.

10 Ayamba abantu abalina ebivuuma mu matu, bano baba bafunye obulwadde bwa ‘Vertigo' obucankalanya puleesa y'amatu.

11 Ate ayamba n'abafuna kammunguluze naddala ggwe alina puleesa eya wansi.

12 Osobola okumukozesa okweyoza mu kyenda ekiyamba okuziyiza kookolo, okwesiba kw'olubuto, emmeeme eya wansi.

13 Ayamba okuteeka akawoowo mu mubisi gw'enjuki, n'ofuna ‘Coffee honey' ow'ettunzi ku katale k'ensi yonna.

14 Tusobola okumukozesa ng'ekyokunywa ku caayi ate n'okuzzaamu amaanyi naddala abo abakola ne bakoowa.

15 Asumulula obutoffaali obuleeta amazzi abakyala ne bayambibwa obutabeera bannabukalu.

16 Olw'okutambuza obulungi omusaayi, ayamba abaami abanafu okwezza obuggya ne baddamu embavu nga bafuna amaanyi g'ekisajja. Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...