TOP

Ddereeva wa ambyulensi eyasse omuntu akwatiddwa

Added 16th November 2019

DDEREEVA w’emmotoka y’eddwaaliro lya Case Hospital eyatomedde omuntu ku Kitgum House poliisi emukutte ne ambyulensi gye yabadde avuga n’atwalibwa ku CPS.

Mmotoka ya Case Hospital eyatomedde Musa n’emutta ng’eri ku poliisi ya CPS mu Kampala. Mu katono ye Patrick Kintu akulira Case Hospital.

Mmotoka ya Case Hospital eyatomedde Musa n’emutta ng’eri ku poliisi ya CPS mu Kampala. Mu katono ye Patrick Kintu akulira Case Hospital.

Kigambibwa nti ku Mmande nga November 11, 2019, wakati w'essaawa 11 n'ekitundu ne 12 ez'oku makya, Richard Sserwadda 50 ddereeva wa ambyulensi ya Case Hospital yatomera agenti wa kkampuni z'amawulire, Majid Musa eyali asala ekkubo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti, Sserwadda baamukutte abayambeko mu kunoonyereza ku musango gw'okuvugisa ekimama n'okutomera omuntu n'amutta.

Yagasseeko nti, ne ambyulensi nnamba UBA 272G ey'eddwaaliro lino baagikutte okubayambako mu kunoonyereza. Yayongeddeko nti, Sserwadda bwe baamukutte, yabagambye nti, yalina omulwadde mu ambyulensi ng'assiza ku byuma omusawo gwe yali naye mu mmotoka n'amulagira avuge atuuse omulwadde mu ddwaaliro balyoke balabe ekiddako.

Akulira eddwaaliro lya Case Hospital, Patrick Kintu yategeezezza bannamawulire nti, kituufu mmotoka yaabwe yatomera Musa oluvannyuma lw'okwabika omupiira nti kyokka, ddereeva teyasooka kukitegeera nti alina omuntu gwe yali atomedde.

Yagasseeko nti, okukitegeera nti mmotoka yaabwe yabadde erina omuntu gw'etomedde, baakitegedde poliisi emaze kugenda ku ddwaaliro ng'enoonyereza.

"Twakolaganye ne poliisi ddereeva waffe ne tumuwaayo eri poliisi era be bakyamulina. Twawadde poliisi obudde ekole okunoonyereza bwe kinaazuulwa nti waliwo obulagajjavu omusango gutwalibwe mu kkooti." Kintu bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, bakungubagira wamu ne ffamire ya Musa eyafiiridde mu kabenje kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...