TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Ebya Kusasira n'aba NRM bituuse mu Kabineeti

Ebya Ebya Kusasira n'aba NRM bituuse mu Kabineeti

Added 16th November 2019

OBUTAKKAANYA bw’abakulembeze ba NRM mu Kampala n’omuyimbi Catherine Kusasira eyaakalondebwa ku buwabuzi bwa Pulezidenti bugenda kuteesebwako mu lukiiko lwa baminisita basale amagezi ku ngeri y’okubugonjoolamu.

 Omu ku baserikale abakuuma Kusasira.

Omu ku baserikale abakuuma Kusasira.

Minisita omubeezi ow'ebyamazzi, Ronald Kibuule bwe yabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM mu Kampala ku Lwokuna, yagambye nti ensonga za Kusasira n'abakulembeze ba NRM mu Kampala agenda kuzitwala mu lukiiko lwa baminisita.

Kibuule teyannyonnyodde lwaki ensonga ezeekibiina kya NRM zituuka okufuuka ez'olukiiko lwa baminisita wabula yagumizza abakulembeze aba NRM mu Kampala okwabadde Godfrey Nyakana ssentebe wa NRM mu Kampala, Salim Uhuru owa Kampala Central ne Hajji Twaha Ssonko (Kalungu) era akulira bassentebe ba NRM mu Uganda nti babeere bakkakkamu, kabinenti ensonga egenda kuzimala Kibuule yagenze mu kafubo ako oluvannyuma lw'okuwulira ng'obutakkaanya bukutte wansi ne waggulu.

Embeera eriwo ey'okuwaanyisiganya ebigambo yasabye eremu kumalamu bakulembeze maanyi n'okulowooza nti basuuliddwa ttale mu nsonga za Kampala.

"Tewali nsonga lwaki abakulembeze mwandibadde mwegwa mu malaka kuba ebigendererwa ffenna tulina bimu bya kulaba nga NRM ewangula era okukituukiriza tulina kusigala nga tukwatagana bulungi," Kibuule bwe yawabudde.

Yasuubizza nga ku Mmande mu lukiiko lwa kabineeti bw'agenda okwanjulira Pulezidenti ensonga zonna mu bujjuvu zisobole okugonjoolwa mu bwangu.

Uhuru yeemulugunyizza ku nneeyisa ya Kusasira gye yagambye nti asussizza okubalengezza nga yatuuka n'okubayita ebikonwa olw'okuba aweereddwa ekifo ky'obuwabuzi bwa Pulezidenti.

Hajji Ssonko yagambye nti ekikulu ky'alaba be bantu abacamuka olw'okuba baweereddwa ebifo, n'asaba buli muntu okumanya w'alina okukoma.

"Wadde nga NRM nkola yaffe okwaniriza buli muntu, kyokka bw'otandika okunafuya b'osanzeewo kibeera kikyamu era obeera olina okutereezebwa nga tonnaba kutabangula mbeera," Ssonko bwe yategeezezza.

Kyokka Kusasira ku Lwokusatu yayanukudde aba NRM abamulumba n'abategeeza nti ye si mukulembeze wa kibiina, wabula yalondeddwa kusaggula bantu bonna omuli aba NRM n'abatali.

Yategeezezza nti mwetegefu okukolagana n'abakulembeze bonna.

Eby'okuyita bakulembeze banne ebikonwa yagambye nti talina linnya lya muntu lye yayasanguza era yenna amusibako eby'okuvuma abeera amusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.

Kusasira okuva lwe yalondebwa azze ayogeza maanyi era aliko abantu bazze asisinkana okumuwa ebizibu abibatuusize ewa pulezidenti Museveni.

KUSASIRA: Amaanyi g'afunye gamutadde mu buzibu!

Ebizibu by'abantu biwuuba Kusasira

Uhuru ne banno nze ndi bboosi wammwe - Kusasira

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...