TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munyiikire okwekebeza siriimu, okumira eddagala n'okukozesa kondomu - Dr. Watiti

Munyiikire okwekebeza siriimu, okumira eddagala n'okukozesa kondomu - Dr. Watiti

Added 16th November 2019

MUNYIIKIRE okwekebeza n’okumira obulungi eddagala naddala abakyala b’embuto kubanga akawuka kabeera kangi mu musaayi nga waakalufuna.

 Omusawo ng’alaga enkozesa ya kondomu zabasajja.

Omusawo ng’alaga enkozesa ya kondomu zabasajja.

Nze Dr. Stephen Watiti, ndi musawo eyakuguka mu kujjanjaba akawuka ka mukenenya. Obusawo buno mbumazeemu emyaka egisoba mu 30 era nnina akawuka akaleeta mukenenya.

Obulwadde buno bwantawaanya nnyo nga siri ku ddagala naye okuva bwe natandika okulimira, sikyalwalalwala era bw'ondaba toyinza kumanya kubanga ndi bulungi n'emirimu gyange ngitambuza bulungi.

Mmira eddagala lyange mu budde era kye kinsobozesezza okukuuma akawuka mu musaayi gwange nga keebase.

Gye buvuddeko, nnali mmira eddagala lyange ku makya ssaawa 4:00 ne ku ssaawa nnya ez'ekiro nga mmaze okufuna ekyokulya. Naye kati ekika ky'eddagala lye mmira, ndimira omulundi gumu olunaku.

Wabula buli luvannyuma lwa mwaka, nzirayo mu ddwaaliro ne bankebera obungi bw'akawuka bwe nnina mu musaayi era ndi mulamu bulungi sikyalina wannuma kuba akawuka keebase, tekakyakosa bulamu bwange okuva mu mwaka gwa 2004.

Wabula kino nkituuseeko lwakuba olugendo lwonna ndutambula ne mukyala wange. Annyamba okunzijukiza okwebaka mu katimba k'ensiri, okumira eddagala lyange mu budde n'okuntegekera emmere ennungi egasa omubiri gwange ekinsobozesezza okukuuma obuwuka nga bwebase.

Mu kiseera kino nga tugenda kujjukira olunaku lwa siriimu olw'ensi yonna olubeerawo buli mwaka nga December 1. Njagala okutuusa okulabula kwange eri abantu bano wammanga.

ABATIINI

Njagala okutegeeza mikwano gyange abavubuka okuva ku myaka 15 okweyongerayo, nti tulina ekizibu kya mukenenya. Mbasaba beekebeze kuba oyinza okuba nga wabufuna okuva ku bazadde bo nga tomanyi. Wabula n'abatalina kawuka mbasaba mweddeko muleme kwegatta na bantu nga temumaze kutegeera ngeri gye muyimiriddemu mu nsonga za siriimu.

Ate bw'oba oli mu ssomero, weesonyiwe ebyokwegatta naye bw'oba omaze okusoma n'ofuna omuntu gw'oyagala, okuwasa oba okufumbirwa, musooke mwekebeze mulyoke mugende mu maaso. Bw'aba alina era musobola okugenda mu maaso wabula nga mumaze kusomesebwa n'okubudaabudibwa obulungi.

ABAKYALA B'EMBUTO;

Buli mukyala yenna asuubira okufuna olubuto naddala mu ggandaalo lino lye tuyingiddemu, namwe musooke mwekebeze mumanye bwe muyimiridde ku nsonga za siriimu kuba abaana bangi abafuna akawuka okuva ku bazadde baabwe wadde nga tugezezzaako okulaba nga tubataasa.

Mu mbeera eno, kiba kirungi ne mwekebeza muleme kusiiga mwana kawuka. Ate ne bwe mukizuula nga muli balamu, kiba kirungi ne mukozesa akapiira ng'oli lubuto kubanga tomanya muntu ddi lw'ayinza okufuna akawuka.

Ebiseera ebisinga bwe tubabuuza lwe wasembayo okwekebeza, ogamba oli bulungi naye ng'emyezi mukaaga gibeera giyiseewo kuba kiyinzika okuba ng'omuntu yaakakafuna.

Naye ate bw'ofuna obulwadde buno ng'oli lubuto n'omwana gw'ositudde mu lubuto ayinza okukafuna kubanga akawuka kabeera kangi mu musaayi nga waakakafuna.

ABAZADDE ABALINA ABAANA NGA BALINA AKAWUKA;

Mbasaba tubeere ba buvunaanyizibwa muyige ebikwata ku bulwadde buno okuva eri abasawo abali mu malwaaliro gye tufunira eddagala bakunnyonnyole engeri gy'olina okulabiriramu omwana wo. Ekisinga obukulu kwe kulaba ng'omwana amira eddagala mu budde, asula mu katimba k'ensiri, okumuliisa obulungi n'obutamutiisatiisa olw'okuba alina siriimu kuba kimuleetera okukula nga yeetya.

ABAANA AB'OBUWALA;

Obuvubuka bulungi kuba bulimu amaanyi naye bulimu ebizibu. Bangi bafuniddemu akawuka naddala abawala. Weekuumye naye bw'ovubukamu ate n'otandika okubuuka n'abasajja abakulu ne bakusiiga akawuka lwa kuba toli mwegendereza. Kiba kirungi ne mwekuuma, mwesonyiwe ensonga z'omukwano mumale kusoma.

Ekiseera bwe kinaatuuka ng'omaze okusoma, ojja kufuna omuntu gw'oyagala, mwekebeze mu manye engeri gye muyimiriddemu olwo mulyoke mugende mu maaso n'enteekateeka zammwe ez'okubeera awamu.

ABASAJJA;

Basajja bannange, twandibadde ku mwanjo nga bakulembeze naye mu nsonga za siriimu, tetukoze bulungi olw'okutya n'obutamanya. Nsaba buli musajja mu maka ge, gye tukuhhaanira, gye tusabira, gye tukolera, gye tubeere yonna twogere nnyo ku nsonga za siriimu, tusomese bannaffe abatamanyi bimukwatako.

Bannange abakuzeemu mu myaka nga nze nga mulina akawuka, mbakubiriza okumira obulungi eddagala lyammwe akawuka kasobole okwebaka. Ekirala, mulina okwegendereza kubanga bw'otuuka mu myaka gyaffe, emikisa gy'okufuna endwadde eziva ku nneeyisa n'endya embi gyeyongera naddala puleesa, obulwadde bwa sukaali ne kookolo.

Tulabe nga tulya bulungi, tukole dduyiro era olina okufuba okulaba nga tofuna mugejjo gwa bulwadde kale n'okugondera amateeka g'omusawo nga bwaba akugambye.

ABALI MU BUFUMBO NG'OMU ALINA AKAWUKA ATE NG'OMULALA TAKALINA (DISCONDANT COUPLES);

Tekitegeeza nti mwawukane kuba bwe mumanya eky'okukola musobola okubeerawo, omulamu olina okuyambako munno asobole okumira, obulungi eddagala. Omuntu bwamira obulungi eddagala lye akawuka ne katalabika mu musaayi, kitegeeza nti tasobola kusiiga kubanga kaggwaamu amaanyi ne keekweka awo n'obeera nga tokyalwala.

Bwe muba mmwagala kuzaala, mwogere n'omusawo abateeketeeke, babawe eddagala eritangira omuntu okufuna akawuka era "Pre exposure Prophylasis" ekibasobozesa okwegatta nga toyambadde kondomu muzaale.

Mu kiseera kino nga tujjukira olunaku lwa siriimu olw'ensi yonna, tulabe nga teri muntu mulala addamu kufuna siriimu.

Bannaffe abalina akawuka, tukomye okubayisa obubi nga tubasongamu emimwa n'okusosolebwa kubanga kibaleetera okutya ne batandika n'okweraliikirira. Ekirala twekuume tuleme kusiiga bantu bapya kubanga ekimala kimala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...