
Ono omukyala yabuukidde boodabooda n’abulawo.
Abataasuze waka awaabadde omukolo e Nabbingo mu Bataka nabo baakedde kugendayo nga bayitiddwa okuweebwa ku bintu omuko Hamza Sebunya bye yaleese.
Okugabana kwatandise ku makya g'Olwokutaano era kwakuliddwa Dennis Ssewankambo eyabadde avunaanyizibwa ku sitoowa omwaterekeddwa ebintu ng'ali wamu ne bataata, bamaama ne ba Ssenga ba Rema obwedda abasalawo ku buli muntu ky'alina okuweebwa okusinziira ku buzito bwe.
Ebyagabiddwa mwabaddemu, omuceere, sukaali, omunnyo, enkoko, amatooke, embuzi, ennyama, sabbuuni, sooda n'ebirala.
Mu kugabana ebintu, embeera yabadde ya keetalo nga buli omu alina ensonda w'akungaanyiza ebibye era oluvannyuma abamu baalabiddwaako nga babisomba babipakira mu mmotoka zaabwe ate abalala baawalirizidddwa okupangisa boodabooda kwe baatudde n'ebintu byabwe bye baagabanye.

Abalala abaabaddewo ng'omukolo ogw'okugaba ebintu gukolebwa ye Hajji Isa Musoke eyabadde ssentebe w'olukiiko oluteesiteesi ng'ono oluvannyuma yeegattiddwaako maneja wa Rema Geoffrey Kayemba.
Aba famire bwe baamaze okufuna bonna, abaabadde bagaba baagabiddeko ne ku bamu ku baliraanwa era n'aba boodabooda ku siteegi eriraanyeewo ne babawa.
Kayemba yeebazizza abantu bonna abeetabye ku mukolo guno naddala Nnaabagereka eyagambye nti omukolo gwatambudde bulungi nga bwe baabadde basuubira kyokka n'asaba abantu okubasonyiwa kw'ebyo ebitaatambudde bulungi.
Abatuuze b'e Nabbingo naddala abavuzi ba boodabooda na kati omukolo gwa Rema ne Hamza bakyagunyumyako olw'ebintu bye baagufunyemu okwabadde ssente enkalu, emigaati, amata ne sukaali ebyabaweereddwa.
Kyokka waliwo abatuuze abaasigadde bakukkuluma olw'obutayitibwa ku mukolo.