TOP

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Added 17th November 2019

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka tebasobola kuzirambulula mu kiseera kino, kubanga ensi yajjula abalogo n’abantu ab’ettima abataagaliza abasobola okwekiika mu ntegeka ssinga bazimanya mangu.

 Sebunya ne Rema nga basala ddansi.

Sebunya ne Rema nga basala ddansi.

SSENTEBE wa Kwagalana bwe yabadde ayogera ku mukolo gw'okwanjula Rema, yagambye nti abantu bye baalabye mu kwanjula byabadde biwero, balinde embaga egenda okumenya emiti!

Godfrey Kirumira mu kiti kye ng'omuzadde ludda lwa Hamza Sebunya ate era nga Ssentebe w'ekibiina ky'abagagga Kwagalana abaatadde ensimbi ennyingi mu mukolo gw'okwanjula; yagambye nti embaga eno yaakubeerawo omwaka ogujja.

Wabula Kirumira yagasseeko nti ennaku z'omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n'annyonnyola nti enteekateeka tebasobola kuzirambulula mu kiseera kino, kubanga ensi yajjula abalogo n'abantu ab'ettima abataagaliza abasobola okwekiika mu ntegeka ssinga bazimanya mangu.

Wadde pulaani y'embaga abamu ku beenyigidde mu kwanjula bagirina, wabula ensonda zaategeezezza nti Rema Namakula ne Sebunya si kye kintu kye bataddeko amaanyi mu kiseera kino era nti kati batunuulidde kya kuzimba famire ennyweevu n'okunyweza emisingi gy'obufumbo bwe baatandise.

Wadde mu kwanjula okwa bulijjo abako bagenda okuvaawo nga bawadde olunaku embaga lw'enaabeerawo, wabula ewa Rema, olunaku abako baavuddeyo tebaluwadde era kya kusalwawo luvannyuma.

Rema bwe yabadde ayogera ku mukolo gw'okwanjula yakirambise nti oluvannyuma lw'okuwoowebwa ne Hamza ate n'omukolo gw'okwanjula ne gukolebwa; Bamaseeka baabawadde olukusa okutambuza obufumbo kubanga kati buli mu mateeka ag'eddiini, n'amateeka ag'ensi.

Omu ku ba famire yategeezezza nti Rema wa nkizo nnyo mu kusalawo ku by'embaga eyo era balinze kigambo kye; olwo balyoke batandike entegeka. Kyokka Bukedde mu kwogera ne Rema ku ssimu ku nsonga za pulaani y'embaga, yayanukudde kimu; "musooke mutulekemu."

Hajji Isa Musoke eyabadde ssentebe w'olukiiko olwateeseteese okwanjula kwa Rema bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti enteekateeka weeri era mu maaso eyo bajja kuba bajanjulira abantu.

Geofrey Kayemba maneja wa Rema yagambye nti "Eby'embaga sibimanyiiko naye kye mmanyi mu buwangwa ab'oludda lw'omulenzi bawandiika ebbaluwa mu butongole etutegeeza ku mbaga ne lwe bagisuubira okubaawo; kati katulinde ebbaluwa." Abamu ku bafamire bakyalina ebibuuzo ku mbaga oba enaabeerawo nga beesigama kw'ebyo ebiva ku ludda lw'omusajja n'ebyo ebiva ku ludda lwa Rema ebiraga nti tewali kyasaliddwaawo.

Kyokka abamu ku baabadde ku mukolo baagambye nti oluvannyuma lw'amaanyi agaayoleseddwa ku mukolo gw'okwanjula n'ensimbi ennyingi ezaateekeddwa mu kwanjula, abagole beetaaga obudde bave mu bukoowu obwo, balyoke balowooze ku by'embaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...