TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza

Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza

Added 17th November 2019

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne metulooni we, Evelyn Namulondo ne bagenda e Kyengera ewa ssenga ow’ensonga, Sarah Nabatanzi ne bakola emikolo gy’okumuyingiza mu kika mu butongole.

EMIKOLO GY'OBUWANGWA GYE BAAKOZE KU REMA

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza kolo, Rema yali ne metulooni we, Evelyn Namulondo ne bagenda e Kyengera ewa ssenga ow'ensonga, Sarah Nabatanzi ne bakola emikolo gy'okumuyingiza mu kika mu butongole.

Emikolo gyetabako ne bassenga ba Rema abalala okwali; Sylvia Nabatanzi, Gladys Naluyimba Semwogerere, Agnes Nakato Najjuma ne bataata ba Rema abato omuli, Gilbert Musaanya, Joshua Semakula Mazinga, Kizza, Frank Kamya Sserunjogi nabo baabaddewo.

Omuko ow'ensonga Gerald, Semwogerere naye yabaddewo. Bangi ku abo ng'oggyeeko Ssenga Sarah Nabatanzi, Rema yabalaba ku olwo.

Beekubisa ebifaananyi bonna lumu ate bwe baamala Rema ne yeekubisa ekifaananyi ekikye na buli omu ku abo okubikuuma ng'ekijjukizo.

Omukolo ogwo, Muyiisa agamba nti ne maneja wa Rema, Godfrey Kayemba yakiikirirwa okulaga ekika abantu b'akola nabo. Ku olwo, Rema eyali talabanga ku bifaananyi bya bazadde be, Charles Mukiibi lwe kyamuweebwa.

Muyiisa agamba nti, Rema yayogera ebintu bibiri ku kitaawe nti, "Eh taata nga yanzaala muto nnyo.

Ate nga yafa mangu." Wabula nti, ebyo tebaabirwako kubanga tegwali mukolo gwa nnaku.

Ebifaananyi, Rema yabasuubiza okubyokyamu kkopi ezize abibaddize babikuume. Mu balala abaali mu bifaananyi ebyo ebyakubwa ku mbaga ya John Chrisestom Muyiisa ng'awasa Rosemary Nakafuuma mu 1989, mulimu jjajja wa Rema, Aloysious Mukiibi azaala Charles Mukiibi taata wa Rema.

Ku mukolo ogwo, ab'ekika kwe baategeerezza abateesiteesi b'omukolo gwa Rema okwanjula Dr. Hamza Sebunya e Nabbingo mu Bataka ku Lwokuna nga bangi bwe baali tebannafuna kkaadi.

Ssenga Nabatanzi eyayogera ku lwa banne, yeebaza abantu bonna abababeereddewo mu kukuza omwana waabwe mu budde we baali tebannamumanya.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...