TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya ab'ekika kye

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya ab'ekika kye

Added 17th November 2019

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku mukolo ogumu ogw’embaga, Nabatanzi n’amugamba nti, “Rema okimanyi nti, nze Ssenga wo”; Rema n’atya.

 Rema (afukamidde) nga yeebaza baaba we gw’ayita maama, Hanifa Birungi (ku ddyo) okumukuza. Mu katono Hanifa bw’afaanana.

Rema (afukamidde) nga yeebaza baaba we gw’ayita maama, Hanifa Birungi (ku ddyo) okumukuza. Mu katono Hanifa bw’afaanana.

Baagobawo ddereeva wa Rema ne boogerera mu mmotoka ebintu bingi ebyaleka Rema nga yeewuunya ebimugambiddwa oba bituufu.

Wano Muyiisa agamba nti, yasalawo ave e Ssese mu bizinga gy'abeera n'ajja mu Bukedde n'ategeeza nga bw'ayagala okumuyambako okutegeeza Rema nti, be bamuzaala.

Nga bigenze mu mawulire ne Rema yabaddiramu mu mawulire nti, bwe baba be bamuzaala basisinkane era bwe kyali ne bakwatagana.

Muyiisa agamba nti, Bukedde ky'ebakoledde kikulu okutuusa n'okuweereza ebifaananyi byagwo butereevu ku ttivvi, mu mpapula ne ku yintaneeti.

Ebika bibiri eky'Endiga n'Ekyolugave Rema mw'azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Ng'enteekateeka z'emikolo zigenda mu maaso, baasisinkanye okutema empenda z'emikolo.

Kino kyavudde ku Rema okumanya obukojjaabwe gye yakulira nga maama we, Hamidah Nabbosa afudde.

Ebika byombi byasisinkanye okutegeka emikolo gy'okwanjula bombi kwe baategeeredde nti, baamuzaala bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...