TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Omwana omuwala alinga ggiraasi esaana okukwata obulungi...'

'Omwana omuwala alinga ggiraasi esaana okukwata obulungi...'

Added 18th November 2019

“Omwana omuwala ggiraasi, bw’esuulibwa wansi eyatika, ate bw’ekwatibwa obulungi ewangaala”. Kino abazadde tebalina kukikweka baana baabwe kubanga nabo bwe bakimanya beekuuma.

 Beat Aya 15 (ku kkono) n’omwana we ow’emyezi omukaaga ne Nancy Keche 15 n’omwana we ow’emyezi omunaana nga bali ku ddwaaliro e Adjumani.

Beat Aya 15 (ku kkono) n’omwana we ow’emyezi omukaaga ne Nancy Keche 15 n’omwana we ow’emyezi omunaana nga bali ku ddwaaliro e Adjumani.

Bya EMMANUEL SSEKAGGO

KKAMPEYINI y'okutumbula embeera z'abaana abawala n'okubakuumira mu masomero okutuusa nga bamazeeko etandise. Kkampeyini eno ey'emyezi esatu ewomeddwaamu omutwe Vision Group efulumya ne Bukedde ng'egenda kubumbujjira ku mikutu gya Vision Group gyonna.

Enteekateeka eno ewagirwa ekibiina ky'amawanga amagatte ekya United Nations Population Fund (UNFPA) n'enteekateeka y'Ensi yonna eya ‘Global Strategic Plan' erina okulaba ng'abaana abawala tebakabassanyizibwa, bamanyisibwa ebikwata ku kwegatta n'okuzaala n'okukunga Bannayuganda bonna okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku baana naddala abawala.

Kkampeyini eno etuumiddwa TUUKIRIZA EKIROOTO KYO.

 anoonya heedimasita wa ololo Kanoonya, heedimasita wa Kololo SSS

 Abantu bagenda kuweebwa omukisa okulonda abo be balowooza nti bakoze kinene okulwanirira omwana omuwala, bawandiikibweko.

Akulira UNFPA mu Uganda Alain Sibenaler yagambye nti alina essuubi nti kkampeyini eno yaakuleetawo enkyukakyuka eyamaanyi eyambeko abaana okutuukiriza ebirooto byabwe.

Yaakuyamba abantu okwongera okumanya ebikwata ku kuzaala, okukendeeza omuwendo gw'abafiira mu ssanya n'enkola z'obuwangwa ezityoboola abakyala nga okubakomola.

Kkampeyini etandise etambulira butereevu mu bigendererwa bya Vision Group, okuvangayo okuwandiika n'okwogera ku nteekateeka z'ebyobulamu eziyamba abantu n'okuleetawo enjawulo mu bulamu bwabwe.

Catherine Mwesigwa amyuka akulira olupapula lwa New Vision yagambye nti kkampeyini ya "Tuukiriza Ekirooto kyo' eruubirira kumulungula nsonga nga zino.

Era asuubira nti kkampeyini w'eneggweerako, abavubuka bajja kuba nga basobola okukubaganya ebirowoozo ku bibanyiga ne basalawo eky'okukola.

Yagambye nti abaana abawala bateekwa kubeera mu masomero so si kuzaala era bateekwa okutaasibwa ku bikolwa ebibanyigiriza.

Okubeera abayiiya gumu ku miramwa gya kkampeyini eno, Mwesigwa yakunze abantu abakulu okwogeranga n'abato babalambike.

 

ABAZADDE MMWE MULINA OMULIMU OMUNENE MU KUKUZA ABAANA ABAWALA

Edward Kanoonya omukulu w'essomero lya Kololo SSS agamba: Okusobola okukuumira abaana abawala mu masomero , abazadde balina okukola omulimu ogw'amaanyi era ogubasuubirwamu.

Abazadde bombi balina okutuula n'omwana waabwe omuwala ne bamubuulirira era ne bamutegeeza nti ‘mwana muwala'.

"Omwana omuwala ggiraasi, bw'esuulibwa wansi eyatika, ate bw'ekwatibwa obulungi ewangaala". Kino abazadde tebalina kukikweka baana baabwe kubanga nabo bwe bakimanya beekuuma.

Okukuumira abaana abawala mu ssomero, abazadde balina okukakasa nti babawa ebyetaago ebibayambako mu bulamu obwa bulijjo. "Abazadde bwe bamala okukola ogwabwe, olwo naffe abasomesa nga twongerezaako. Tetusobola kukuumira baana bawala mu masomero ng'abazadde tebakoze gwabwe. Omusomesa omu alabirira abaana abasukka mu 50.

Kino kimubeerera kizibu okutuuka ku buli mwana ate ng'omuzadde asobola bulungi okutuula n'omwana we n'abaako by'amugamba.

 r intu okuva e ityana Fr. Kintu okuva e Mityana.

 

‘BULI MUNTU ALINA OLUBIMBI OLW'OKULIMA'

Rev. Fr. Joseph Kintu omumyuka wa Bwanamukulu w'ekigo kye Naluggi mu ssaza lya Kiyinda-Mityana era nga y'atwala amasomero mu kigo ky'e Naluggi agamba:

Abaana abawala embeera mwe bakulira si nnungi n'akamu ensangi zino, abazadde naddala abasajja babeera mu mwenge olwo bwe badda awaka ne batandika okuyombagana n'okulwana ng'abaana balaba.

Kino kirina engeri gye kiyingira mu bwongo bw'abaana naddala abawala ne beetamwa awaka. Omwana bwe yeetamwa awaka kitegeeza n'emikisa gy'okusoma giba gikendeera.

Awo nno abazadde balina okukakasa nti bateekawo embeera ewa abaana emirembe naddala nga bali waka olwo n'essomero baba bajja kulyagala.

Ekirala balina okubawa ebikozebwa nga ne bwe baba batuuse mu nnaku zaabwe ez'ekikyala tebeeraliikirira.

"Omuzadde otuma otya omwana omuwala ku luzzi ekiro! Ye lwaki omuleka awaka n'ogenda okucakala n'odda mu budde bw'ekiro" Fr. Kintu bwe yabuuzizza.

Agamba nti ne gavumenti erina okunyweza amateeka, erina okukakasa nti omuntu aggye omwana omuwala mu ssomero akwatibwa era n'avunaanibwa. Wabula nga byonna ebyo bikolebwa, tetulina kwerabira kusabira baana baffe. Katonda y'akola byonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...