TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti etaddewo bbiriyooni 110 okulwanyisa obwavu

Gavumenti etaddewo bbiriyooni 110 okulwanyisa obwavu

Added 18th November 2019

GAVUMENTI etongozza enteekateeka empya ey’okulwanyisa obwavu.

 Haruna Kasolo ng'ayanjula enteekateeka ya Pulezidenti

Haruna Kasolo ng'ayanjula enteekateeka ya Pulezidenti

Mu nteekateeka eno, gavumenti etaddewo bbiriyooni 110 ezigenda okuyisibwa mu bibiina ebya SACCO.

Okuganyulwa mu ssente zino olina kuba ng'olina ekibiina kye weegattiramu nga mulina ekiruubirirwa ky'okwegobako obwavu.

Minisita avunaanyizibwa ku Micro Finance, Haruna Kasolo Kyeyune yakiikiridde Pulezidenti Museveni ku mukolo ogw'okwanjula nteekateeka eno eri abakulembeze, n'abakozi ba gavumenti ba disitulikiti y'e Mukono, Kayunga, Buikwe ne Buvuma.

Yatongozza n'akakiiko akagenda okuddukanya enteekateeka eno nga kakulirwa omubaka wa Pulezidenti e Mukono Fred Bamwine.

Kasolo yagambye abantu abakola emirimu egy'enjawulo okuli baddereeva ba takisi, Saluuni, ababazzi, abakulembeze, abakyala , bannamawulire, abatunda ebirime, abafumba emmere, abakola mu butale, abe byalaani bamakanika, aba bboodabbooda, abaazirwanako, abavubi, abayimbi n'abalala nga baweza emyaka 18 baddembe okwekolamu ekibiina okutandikira ku miruka gyabwe bajja batandike okutereka oluvannyuma beekolemu SACCO ku mutendera gwa disitulikiti beerondemu abakulembeze Pulezidenti abawe ssente obukadde 30 ne 50.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...