TOP

Obugaali bwe baasuubiza aba LC bubatabudde

Added 18th November 2019

Yagambye nti baludde nga baagala okusisinkana Puezidenti kyokka amabaluwa ge bawandiika tebamanyi oba gamutuukako ng’ate n’abantu be babadde batuukirira okubatuusaayo bakyalemeddwa okubatwala.

 Abamu ku ba LC abaabadde mu lukiiko.

Abamu ku ba LC abaabadde mu lukiiko.

Bya Rosemary Nakaliri
 
BASSENTEBE ba LC1 ne LCll mu Kampala bakkukkulumidde Gavumenti olw'okulemererwa okubawa obugaali maanyi ga kifuba ne 10,000/-  ezaabuli mwezi Pulezidenti Museveni ze yabasuubiza okubayamba mu mirimu gyabwe. 
 
Baabadde mu lukiiko olwatudde ku Ssande e Nakulabye mwe baakubaganyizza ebirowoozo ku mitendera gye balina okuyitamu okusisinkana Pulezidenti.
 
Stephen Nsereko, ssentebe w'ekibiina ekigatta bassentebe b'ebyalo n'emiruka mu Kampala yagambye nti Gavumeti tebafudde wadde ekimanyi nti be bakulembeze abasinga okukola.
 
Yagambye nti baludde nga baagala okusisinkana Puezidenti kyokka amabaluwa ge bawandiika tebamanyi oba gamutuukako ng'ate n'abantu be babadde batuukirira okubatuusaayo bakyalemeddwa okubatwala.
 
Bassentebe abaabadde bakutte ebipande ga biwandiikiddwako nti, twagala kusisinkana Pulezidenti',baategeezezza nti n'ababaka be baalonda okubakiikirira mu palamenti tebabasakidde wadde okutuusaayo okwemulugunya kwabwe.
 
Omwogezi w'ekibiina kino Jimmy Dheyongera yagambye nti Gavumeti yandibadde ebafaako kuba be bantu abasookerwako era abamanyi ebizibu by'omuntu wa wansi kyokka Ssentebe w'abavubuka e Lubaga Nicholas Mapeera yagam
bye nti nga Pulezidenti bwe yakkiriza okusisinkana abavubuuka ba Ghetto nabo yandibadde afuna akaseera nabasisinkana ne bamubuulira ebizibu ebiri mu bitundu byabwe kubanga babimanyi n'abantu be bakulembera nabo babamanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...