TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyafiiridde ku kyeyo bamukebedde ng'omutima n'amawugwe byalwala

Eyafiiridde ku kyeyo bamukebedde ng'omutima n'amawugwe byalwala

Added 18th November 2019

Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 33/16 /10/2019 kyokka ekimuluma Kigozi tannaba kubuuzibwa engeri gye yatwala Nakintu ku kyeyo e Al-Ain n’okumanya ekyamutuukako n’afa. Nakintu yafa nga September, 28, omwaka guno.

 nakintu

nakintu

Bya Mohammad Ssebuliba

OMULAMBO gw'omuwala Fatumah Nakintu eyafiira ku kyeyo e Dubai gwakomezeddwaawo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Aisha Nalubega ow'e Wakiso - Kukyoga maama w'omugenzi yagambye nti kyabatwalidde ebbanga okukomyawo muwala we kubanga baabadde balina emitendera mwe balina okuyita ekitabadde kyangu.

Wabula yakukkulumidde poliisi y'e Wakiso olw'obutamuyamba wadde yaloopa Hamid Kigozi gw'alumiriza okutwala omuwala gye yafiiridde. 

Omusango guli ku fayiro nnamba SD: 33/16 /10/2019  kyokka ekimuluma Kigozi tannaba kubuuzibwa engeri gye yatwala Nakintu ku kyeyo e Al-Ain n'okumanya ekyamutuukako n'afa. Nakintu yafa nga September, 28, omwaka guno.

 alubega maama wa akintu eyafiiridde ku kyeyo Nalubega maama wa Nakintu eyafiiridde ku kyeyo.

Willy Makubuya nga ye kojja w'omugenzi eyakomawo  n'omulambo yagambye nti ekimu ku byalwisizaawo omulambo okudda  ye minisitule okulwawo okuweereza ebbaluwa eraga nga bazadde b'omugenzi bwe bali abeetegefu okufuna omulambo gwabwe.

Nalubega yagambye  nti bwe yasemba okwogera ne muwala we yamutegeeza ng'o mukadde gwe yali alabirira bwe yafa ng'ali mu ntegekka okufuna omulimu omulala. Kyokka waayitawo ennaku bbiri zokka n'afa. 

Alipoota y'omu sawo okuva mu ddwaaliro e Mulago yategeezezza ng'omugenzi okufa kyavudde ku bulwadde obwamulumba mu mawuggwe n'omutima ogwasangiddwa nga gwetoolooddwa amazzi.  Omugenzi yaziikiddwa e Busobwe mu Buddu ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.