TOP

Abaana abazaalibwa nga tebatuuse beeyongedde

Added 18th November 2019

Kirikumwino yagambye nti ekifo we balabirira abaana bano kikyali kifunda ne basaba Gavumenti okulowooza ku kukigaziya.

 Doreen Mwogererwa ( asitudde omwana ) ne Kirikumwino nga basomesa abakyala.

Doreen Mwogererwa ( asitudde omwana ) ne Kirikumwino nga basomesa abakyala.

bya Jaliat Namuwaya
 
ABAZAALISA mu ddwaaliro e Mulago batandise kaweefube w'okusomesa abakyala endabirira n'enkuza y'abaana abazaalibwa  nga tebannatuuka.
 
Abasawo okuvaayo okunnyikiza okusomesa abakyala kiddiride omuwendo gw'abaana abazaalibwa nga tebannatuuka okweyongera nga ku baana 1,000 abazaalibwa 30 baba tebanatuuka. Agnes Kirikumwino, omuzaalisa mu ddwaaliro e Mulago yagambye nti abawala abafuna embuto nga bakyali bato basobola okufuna obuzibu ne bazaala omwana nga tannatuuka. Endwadde z'ekyama, sukaali puleesa nabyo biyinza okuleetera omuzadde ekizibu n'azaala omwana atatuuse.
 
Kirikumwino yagambye nti ekifo we balabirira abaana bano kikyali kifunda ne basaba Gavumenti okulowooza ku kukigaziya. 
Doreen Mwogererwa omuzaalisa  yagambye  nti abaana abazaalibwa nga tebannatuuka abazadde balina okubalabirira mu ngeri ey'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...