TOP

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde Gavumenti

Added 18th November 2019

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti tebafiiriddeko ddala kyokka nga be bakulembeze abasinga okukola ennyo kye yagambye nti tebakyasobola kukigumiikiriza.

 Abamu ku bassentebe ng bali mulukiiko e Nakulabye.

Abamu ku bassentebe ng bali mulukiiko e Nakulabye.

BYA ROSEMARY NAKALIRI

BASSENTEBE ba LC1 ne LC2 mu Kampala bakukkulumidde gavumenti olw'obutabawa bugaali n'ensimbi 10,000/- ze yabasuubiza buli mwezi zibayambeko mu ntambuuza y'emirimu.

Bano baasinzidde mu lukiiko lwe baatuuzizza  ku Ssande e Nakulabye nga bakubaganya ebirowoozo ku kiki kye bazzaako n'okutema empenda  bwe banaayambibwa okusisinkana Pulezidenti Museveni.

Stephen Nsereko ssentebe w'ekibiina ekigatta bassentebe b'ebyalo n'emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti tebafiiriddeko ddala kyokka nga be bakulembeze abasinga okukola ennyo kye yagambye nti tebakyasobola kukigumiikiriza.

Yayongeddeko nti baludde nga baagala okusisinkana pulezidenti naye nga balemesebwa ebitongole bye bazzenga batuukiria nga n'ebbaluwa ze bamuwandiikira tebafuna kuddibwamu wano we yasinzidde n'asaba pulezidenti akole enteekateeka abasisnikane.

Bassentebe ababadde bakutte ebipande ebiwandiikiddwako ebigambo  ‘twagala kusisinkana puleziddenti baategeezezza nti n'ababaka be balonda okubakiikirira mu palamenti tebabayambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...