TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza abalimi mu Lwengo

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza abalimi mu Lwengo

Added 18th November 2019

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera mpola ppaka lwe zifuuka essanja, ate bwe kiba ng’ekitooke kitaddeko emmere, ettooke lino lyengere ne bwe liba lyakava mu ngo (empummumpu).

 Abamu ku basuubuzi nga bakungaanya embidde mu kifo ky'amatooke ge battikanga.

Abamu ku basuubuzi nga bakungaanya embidde mu kifo ky'amatooke ge battikanga.

Bya FLORENCE TUMUPENDE


ESSUUBI liwedde mu balimi n'abasuubuzi b'amatooke olw'ekirwadde kya kiwotoka abangi kye baakazaako erya 'Toduula' ekibamazeeko emirembe  n'okubakuba obwavu.


Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw'omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera mpola ppaka lwe zifuuka essanja, ate bwe kiba ng'ekitooke kitaddeko emmere, ettooke lino lyengere ne bwe liba lyakava mu ngo (empummumpu).


Obubonero obulala kw'olabira nti ekitooke kino kikwatiddwa ekirwadde kino, bw'oba osala ekyaayi kyaakyo kiba kikaluba ate ekigogo kikyuka kkala ne kitabulamu langi eya kyenvu ng'olwo omanya nti lubadde. Ate omugogo gwakyo bw'ogutema n'ogusuula wansi, enkeera guba guvaamu ebintu ebyefaanaanyirizaako amata agafudde nga bino biba biwunya ekivundu era osanga ensweera zigukungaaniddeko.


Abalimi bawanjagidde Gavumenti ebataase ku ddagala erivumula ekirwadde kino kuba kisensera ppaka ng'olusuku luweddewo ekintu eky'obulabe.

Obumu ku butale okuli ak'e Kinoni ne Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo obwasuubulibwangamu amatooke nga bagatwala mu bitundu bye Rwanda,Tanzania ne Kenya kwossa ne ku muliraano gwe Kampala kati bujjudemu ndiizi ne musa ate nga nazo zaakuwenja olw'ekirwadde kino.

Abakungu abavunaanyizibwa ku by'obulimi n'obulunzi mu Lwengo nga bakulembeddwaamu Kezia Bacia baategeezeza nga bwe baali bamanyi nti bakakensa bajja kuba bafunye eddagala erivumula ekirwadde kino obutasukka myaka ebiri ekitannaba kukolebwa.     Bano bawadde abalimi amagezi okutemamu ebitooke ebikwatiddwa ekirwadde kino basimbemu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...