TOP

Munnayuganda alidde obusumba e South Afrika

Added 19th November 2019

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Obubaka buno bwafulumiziddwa mu mawulire e Vatican . Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa  omubaka wa Paapa e South Afrika Ssabasumba Peter B Wells eyategeezezza nti Msgr Joseph Kizito agende kutuuzibwa mu ntebe mu bbanga lya myezi esatu okuva lwe yalondeddwa.

Omusumba omulonde Joseph Kizito yazaalibwa Wakaliga mu Kampala nga July 2,1967.Yasoma mbeera z'abantu (Philosophy) mu St. Augustine Major Seminary e Roma . Lesotho  wamu n'ebyeddiini (Theology) ku ttendekero lya St. John Vianney , Pretoria e South Afrika.

Yafuuka faaza nga September 27,1997. Nga tanalondebwa ku Busumba Msgr Kizito abadde Vicar General w'esaza ly'e Aliwal North  era nga Bwanamukulu wa Lutikko ya Aliwal North.

Yakolako nga Vicar w'ekigo kya St. Francis Xavier wakati wa 1997 ne 1998 n'afuuka Bwanamukulu w'ekigo kya  St. Augustine e Dordrecht wakati wa 1998 ne 2003. Abadde bwanamukulu wa Lutikko ya Aliwal okuva mu 2013. 

Esaza ly'e Aliwal lyatandikibwawo mu 2017 era lirimu ba Faaza 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...