TOP

Ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu afudde

Added 20th November 2019

Ssentebe w'akakiiko k'eddembe lyobuntu afudde kikutuko!

 Meddie Kaggwa

Meddie Kaggwa

Bya Catherine Lutwama

Ssentebbe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu, Meddie Kaggwa afudde. Kaggwa asirikidde ku siteeringi ya mmotoka ye mu bitundu by'e Mulago ekya ya leero bwabadde avuga okugenda okukola.

Emmotoka bamenye mmenye okumuggyamu n'addusibwa ku ddwaliro lya Case gye bakakasirizza nti afudde.

mugenzi aggwa ku ddyo ngali nomuwala eegulo ku mukolo gwa  gwe yasembyeyo okubaakoOmugenzi Kaggwa (ku ddyo) ng'ali n'omuwala eegulo ku mukolo gwa UNICEF gwe yasembyeyo okubaako.

 

Kaggwa waafiiridde abadde ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission okumala emyaka munaana.

Yaliko kamisona ow'enjawulo ku nsonga z'abasibe n'embeera zaabwe ku kakiiko k'Africa ak'eddembe ly'obuntu. Alina diguli ya Masters mu mateeka okuva mu National University of Ireland, diguli mu mateeka okuva e Makerere ne dipulooma y'amateeka okuva ku Law Development Centre.

Yaliko omubaka wa palamenti owa Kawempe South, era mmemba wa EastAfrican Legislative Assembly era yakiika ne mu Counstituent Assembly eyabaga ssemateeka wa 1995. Abadde musajja mufumbo alina n'abaana.

Asuubirwa okuziikibwa leero e Mpigi ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...