TOP

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto

Added 20th November 2019

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu ne buddamu ng’ate abakwatibwa kkooti zibayimbula.

 Abamu ku baakwatiddwa.

Abamu ku baakwatiddwa.

POLIISI y'oku Kaleerwe ekoze ekikwekweto mw'ekwatidde abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka abasoba mu 30, aba LC ne babawaako obujulizi.

Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri poliisi y'oku Kaleerwe eyaduumiddwaamu OC ASP Frank Ayo baakoze ekikwekweto mwe baakwatidde abavubuka bano.

Ku Lwokubiri poliisi yayise abakulembeze ba LC ne basunsulamu abatalina mutawaana ne bayimbulwa ng'abalala balindirirwa kutwalibwa mu kkooti.  

Abamu ku batuuze baalumirizza abakwate nti emisana beerimbika mu bulimu obutonotono olwo ekiro ne bateega abantu.

Omu ku batuuze, Kato Mutyaba yategeezezza nti poliisi ky'erina okukola kwe kukwatagana n'abakulembeze ba LC ne bagiwa olukalala lw'abamenyi b'amateeka ab'omutawaana kuba abasinga bamanyiddwa nga bazze bakwatibwa ne batwalibwa mu kkooti ne bayimbulwa ne batandikira we baakoma mu kutigomya abantu.

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw'amateeka buba ng'obukendeeramu mu kitundu ne buddamu ng'ate abakwatibwa kkooti zibayimbula.

OC ASP Ayo akulira poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti  bagenda kukolagana ne bassentebe b'ebitundu okulaba nga balwanyisa abamenyi b'amateeka naddala ng'ennaku enkulu zisembedde.

Mu baakwatiddwa mwabaddemu  Ibrahim Mugisha, 49 eyagambye nti mutuuze w'e Gayaza Kijabijo ng'akola gwa  buzimbi.  Mu kwewozaako baagambye nti baabakutte badda waka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...