TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni n'abakulira poliisi

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni n'abakulira poliisi

Added 20th November 2019

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa abeekalakaasa mu Kampala.

 Omuduumuzi wa poliisi Okoth Ochola ng’ayaniriza Pulezidenti Museveni e Naggulu wakati ne Minisita Obiga Kania

Omuduumuzi wa poliisi Okoth Ochola ng’ayaniriza Pulezidenti Museveni e Naggulu wakati ne Minisita Obiga Kania

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n'alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa abeekalakaasa mu Kampala.

Museveni eyatuuse ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu biseera by'amalya g'ekyemisana yalambudde ennyiriri oluvannyuma n'ayingira mu ofiisi y'omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola mu kafubo ke batakkirizzaamu baamawulire.

Bwe yatuuse okwogera eri b'ofiisa ba poliisi abatuula ku kakiiko akafuzi (Police Council) yategeezezza nti ebisinga obungi babikoze wabula kye basaana okussaako essira nga bategeka bye bagenda okukola mu kiseera ekijja kwe kwongera ku muwendo gw'abaserikale abagumbulula abeekalakaasa mu bibuga.

Museveni bwe yabadde atandika okwogera ng'ayaniriza abakulu abaabadde batudde okumuliraana, yayogedde ku muduumizi wa poliisi, minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda Obiga Kania n'agamba nti mpozzi n'ono omusajja omuto gwe ssimanyi. Wano gwe yasonzeeko yayanguye okweyanjula nti,' ssebo nze mumyuka wa RCC e Nakawa, Herbert Anderson Burora'.

Luno lwabadde lutuula lw'akakiiko ka poliisi akafuzi olw'omulundi ogwa 25 kyokka gwabadde mulundi gwa Pulezidenti Museveni ogusookedde ddala okwogerako eri akakiiko kano.

Ochola yategeezezza Pulezidenti nti baabadde bateesa ku nsonga ez'enjawulo omuli okusoomoozebwa kwe baamwanjulira omwaka oguwedde.

Ebimu ku bibasoomooza bye yayogeddeko kuliko; okwongera ku muwendo gw'abaserikale abakola emirimu, okwongera okutendeka abaserikale, obutafuna ssente zimala kukola mirimu n'obutaba na tekinologiya amala okulwanyisa buzzi bw'emisango.

Yeebazizza ebimu ku bikoleddwa era n'ategeeza nti ekizimbe we bagenda okussa ebyuma kwe balabira kkamera eziri ku nguudo bye zikutte kiwedde n'amusaba akomewo nga November 28 okukiggulawo.

Mu kwanukula Pulezidenti yabasabye okwanguwa okussa mu nkola tekinologiya gwe baakafunako kibayambe okukola obulungi emirimu gyabwe n'okukendeeza ku nsimbi ze basaasaanya.

Okugeza yagambye nti kkamera bwe zibeera ku nguudo tezigenda kusaba kyamisana oba okuziwa caayi nga bwe kibeera ng'abaserikale bayimiriddeko.

Yayongeddeko nti poliisi esaana ekole nga bwe baakola mu magye okuzimba essomero lya siniya ‘Police Secondary School', nga buli muserikale atwalayo abaana bana bwe basukkamu ng'abasasulira.

Amasomero gano agamba nti galina kuzimbibwa mu bitundu nga Greater Masaka, Ankole, Kigezi nga buli kitundu kifuna essomero ate nga lya kisulo.

Yalagidde abaserikale ba poliisi okufaayo okukola ekituufu n'agamba nti okugeza yeewuunyizza bwe yasomye mu mawulire n'alaba nga waliwo nnannyini ssomero abadde akabassanya abayizi kyokka olwamukutte ne bamuyimbula.

N'agamba nti eno ensonga agenda kugirondoola ye kennyini akakase oba poliisi ye yamutadde oba kkooti akimanye oba waliyo omuntu ali waggulu w'amateeka. N'ategeeza nti poliisi eriwo kukuuma bantu n'ebyabwe.

Museveni yategeezezza olukiiko lwa poliisi nti bo balina omukisa bye bakola byonna waliwo be baasikira abaali mu ofiisi ezo okusooka kyokka ye okujja mu buyinza talina kye yasangawo yatandikira mu bbanga okuzimba eggwanga.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...