TOP

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza abazikozesa

Added 21st November 2019

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa.

 Kondomu.

Kondomu.

Bya PROSSY NABABINGE
 
Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa.
 
Okulabulwa kuno kukoleddwa ekitongole kya Marie Stopes Uganda era nga bano bategeezezza nga bwe waliwo kkondomu za bika bibiri ezirambiddwaako ennamba okuli "19040205 ne 19050105" ezitatuukana na mutindo eziri ku katale Bannayuganda ze balina okugenderera.
 
Dr. Carole Ssekimpi akulira Marie Stopes Uganda yagambye nti ebika ebibiri bino bwe byazuuliddwa nga tebituukana na mutindo gwa kkondomu ezirina okubeera ku katale n'asaba buli muntu yenna alina kkondomu eziteereddwaako ennamba ezo okuzibatwalira, bamuddize ssente ze.
 
Kino kiddiridde ekiwandiiko ekyafulumizibwa ekitongole kya National Drug Authority nga kiragira Marie Stopes okukungaanya kkondomu zino bunnambiro okuva mu Bannayuganda nga October 30, 2019.
 
Dr. Medard Bitekyereza okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'eddagala eriteekebwa ku katale ekya National Drug Authority yagambye nti,
bwe baakebedde kkondomu zino baazudde ng'ezimu zirimu ebituli so ng'endala zisobola okwabika singa omuntu abeera azikozesa ekintu ekiyinza okuteeka oyo
abeera azikozesezza mu katyabaga k'okufuna olubuto n'endwadde z'ekikaba omuli ne siriimu.
 
Ono yannyonnyodde nti, bamaze okuyisa ebiragiro eri ekitongole kya Marie Stopes okulaba nga baffeffetta kkondomu zino okuva mu bitundu yonna gye baazigaba n'oluvannyuma babawe lipooti ku mmeka ze basobodde okununula n'ezo ezibadde
zimaze okweyambisibwa abantu olwo bamanye eky'okukolera abantu.
 
Dr. Ssekimpi yayongeddeko nti mu kiseera kino bakolaganira wamu n'ekitongole kya National Drug Authority okukakasa nga kkondomu ezitatuukanye na mutindo teziddamu kufulumizibwa ku katale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...