TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Klezia etegese okusabira abalwadde ba siriimu Novena

Klezia etegese okusabira abalwadde ba siriimu Novena

Added 22nd November 2019

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena y’okusabira abantu abafa n’abaazaalibwa n'akawuka ka siriimu.

Okusaba kuno kutandise leero ku Lwokutaano ku lusozi lwa Queen of Peace e Kiwamirembe ku Lwokutaano ng'omukolo gwakutandika nakutongoza kibiina ky'abaana n'abavubuka abazaalibwa n'akawuka  ekya HIV infected Children & Youth Foundation(HICYF).

Fr. Edward Kabanda akulira ekifo kino yategeezezza nti ekigenderwa kya Novena  eno ey'ennaku omwenda kwe kusabira abantu abaafa siriimu, abaana n'abavubuka abazaalibwa nakawuka saako okuyamba abantu abayita mu mbeera eno n'okubasembeza okumanya nti waliyo ababafako.

Yagambye ekibiina kino kirimu abaana abali wakati we myaka 6 ne 18 abava mu disitulikiti ye Wakiso nga mu nteekateeka eno bakubayamba okulaba nga basoma, bafuna okufiibwako okw'enjawulo, okubudaabudibwa n'okufuna eddagala mu budde.

Awadde abazadde amagezi okubulira abaana baabwe amazima nga bakyali bato kibayambe okufuna obuyambi  n'okubatandisa eddagala mu budde.

Yeekokkodde bannaddiini ababuzabuza abantu nga babulira enjiri ey'obulimba nti siriimu awona ne batuuka n'okubakyayisa okumira eddagala.

Yasabye abantu okujjumbira okwekebeza n'okukwekuuma kyokka ng'ekikulu mu byonna kwekukwata ebiragiro bya Katonda n'okubiteeka mu nkola.

Yakomekkereza ng'akowoola Bannayuganda bonna okuyamba abaana abali mu mbeera eno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi yeezoobye n'aba ake...

Bino bibaddewo olwaleero(Lwakusatu ku makya) abasuubuzi abakulembeddwa,ssentebe w'ekibiina kino Godfrey Katongole...

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....