TOP

Ssente z'ekibiina zimutwazizza e Luzira

Added 22nd November 2019

Yagambye nti November 4 omwezi guno Mugabi ne banne baagenda mu bbanka ya Finance Trust ku Kaleerwe ne baggyayo obukadde 54 ne bagenda mu kkampuni gye bagula ppikippiki nga ssente baazikwasa Mugabi okuzitwalira kaasiya ng’eno gye yaggyirako obukadde 10 nga bwe yavaayo teyabaweerawo lisiiti.

 Mugabi ng'ali ku poliisi e Kawempe we yaggyiddwa okutwalibwa e Luzira.

Mugabi ng'ali ku poliisi e Kawempe we yaggyiddwa okutwalibwa e Luzira.

BAMMEMBA mu kibiina ky'obwegassi bakutte munnaabwe  agambibwa okubba ssente obukadde 10 ku ezo ezamuweereddwa okugulamu ppikippiki, kkooti emusindise Luzira.

Remy Mugabi 40, ow'e Nammere yakwatiddwa poliisi y'oku Kapaapaali e Mulago we yaggyiddwa n'atwalibwa ku y'e Kawempe oluvannyuma lwa bammemba mu kibiina kya Agali Awamu Boda Boda and Traders - Development Kaleerwe Lufula okumulumiriza  okubba obukadde 10 ku zaamuweereddwa okugula ppikippiki 17.

Kasim Luyiga 38, omuwi w'amagezi mu kibiina kino yategeezezza nti  bassaako abantu basatu abalina obuyinza okuggyayo ssente nga ne Mugabi kwali  nga balina bammemba abasoba 270 nga buli lunaku buli mmemba asasula 11,000/- ku nkomerero y'omwezi ne bagulamu ppikippiki ne bazigabira bammemba.

Yagambye nti November 4 omwezi guno Mugabi ne banne  baagenda mu bbanka  ya Finance Trust ku Kaleerwe ne  baggyayo obukadde 54 ne bagenda mu kkampuni gye bagula ppikippiki nga ssente baazikwasa Mugabi okuzitwalira kaasiya ng'eno gye yaggyirako obukadde 10 nga bwe yavaayo teyabaweerawo lisiiti.

Yagasseeko nti enkeera yabawa lisiiti ng'eriko omuwendo gwa ssente ezitawera bwe baamukunya n'ategeeza nti kirabika kaasiya yakozeemu ensobi kuba ssente zonna yazimukwasizza. Baamukwata ne bamutwala mu kkampuni ng'eno kkamera zaamulaze ng'atuuse ewa kaasiya n'aggako obukadde 10 n'abuteeka mu nsawo.

Mugabi omusango yasoose kugukkirizza n'asaba bammemba bamusonyiwe bakole endagaano abasasule mpolampola kyokka oluvannyuma yaleese bannamateeka be omusango n'agwegaana ekyawalirizza bammemba okusaba poliisi  emutwale mu kkooti ya LDC eyamusindise e Luzira.

Sulaiman Ssekannyo ssentebe w'abasuubuzi mu lufula y'oku Kaleerwe yategeezezza nti balina ebibiina by'obwegassi  ebiwerako ng'era tebirina buzibu nga Mugabi y'asoose okubba ssente. Omusango guli ku fayiro SD:08/06/11/2019

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...