TOP

Omusuubuzi bamubbyeko mmotoka ng'agisimbye we bazisuza e Wobulenzi

Added 22nd November 2019

Omusuubuzi gwe babbyeeko mmotoka awanjagidde poliisi emuyambe kuba obulamu bwe kwe buyimiridde

 Mmotoka eyabbiddwa we yasimbibwa

Mmotoka eyabbiddwa we yasimbibwa

Bya Lilian Nalubega

Omusuubuzi w'ente bamubbyeeko mmotoka ye ey'ekika kya Fuso ku luguudo n'awanjagira Poliisi ekole ekisoboka okuginoonya kubanga kuno obulamu bwe kwe buyimiridde.

Moses Nsubuga, nga mutuuze w'e Wobulenzi yasangiddwa ku poliisi e Wobulenzi gye yagguliddewo omusango ku fayiro Sd. Ref 15/16/11/2019 nga bimusobedde era nga yawaliriziddwa n'okugenda ku poliisi esinga ku y'omu kitundu okunoonya oba nga basobola okunoonyereza mmotoka ye nga bakozesa kkamera z'oku nguudo.

Mmotoka eyabbiddwa ya kika kya Fuso Fighter No. UAY-352H nga Njeru mu langi erimu n'ekikuubo kya bbulu nga n'omutwe gwayo gwa bbulu.

 Moses Nsubuga eyasobeddwa olw'okubbibwako mmotoka

"Mmotoka nagisimbye ku mabbali g'ekkubo ekiro nga bwe tutera okukola kubanga wano kumpi ffenna abagoba ba mmotoka ennene we tuzisuza ku kkubo. Bwe navudde okusuubula ente mu katale k'e Nnyigoga naggukidde mu katale ku Kaleerwe era ne nkyusa ne nzira e Wobulenzi. Ssaagenze walala wonna kyokka obudde bw'abadde bukya ku ssaawa nga 10:00 ku Lwomukaaga abantu abataategeerekese ne bagisimbulawo ne bagitwala.

Twafunye abazirakisa abaatubuulidde ekkubo gye yakutte ne tugoberera kyokka ate oluvannyuma nga bukedde bannaffe abaabadde baatutte ente ku luguudo Port bell ne batutegeeza nti, bagirabyeko e Bugoloobi ng'esimbiddwa ku kkubo.

luguudo mu obulenzi ekitundu ekimanyiddwa nga mu ikookoowe abagoba ba mmotoka ennene we batera okuzisimba ababbi we babbye mmotoka ya subugaOluguudo mu Wobulenzi ekitundu ekimanyiddwa nga mu Kikookoowe abagoba ba mmotoka ennene we batera okuzisimba, ababbi we babbye mmotoka ya Nsubuga

 

Abaagibaddemu twababuuzizza ddereeva waayo oba Kasirye abatera okugibeeramu gye bali ne batugamba nti, balina we babalese nga nabo baabaddeko kye banoonya naffe ne tubaleka, kyokka amangu baagisimbudde ne bakwata ery'e Kinnawattaka," abamu ku baddereeva abakola ne Nsubuga bwe baagambye.

Nsubuga yayongeddeko nti, bwe yatuuse ku poliisi e Kawempe baamutegeezezza nga bwe balina byonna ebifa ku nguudo kkamera we zikoma nga n'emmotoka ye yalabiddwaako kyokka ne bamutegeeza nga bw'alina okuyita mu mitendera okufuna akatambi akalaga amayitire ga mmotoka ye.

"Abaana bange sirina kye ng'enda kubalabiriza kubanga kati ndabika nkomye!" Nsubuga bwe yawanjaze n'asaba poliisi emuyambe okugizuula.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu