TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Bobi Wine gye yawalirizzaamu Poliisi okkuba ttiyaggaasi mu kuziika Med Kaggwa

Engeri Bobi Wine gye yawalirizzaamu Poliisi okkuba ttiyaggaasi mu kuziika Med Kaggwa

Added 23rd November 2019

Engeri Bobi Wine gye yawalirizzaamu Poliisi okkuba ttiyaggaasi mu kuziika Med Kaggwa

 Omu ku baserikale abakuuma Omumyuka wa Pulezidenti ng’agezaako okutangira Bobi Wine (mu gaalubindi) n’abawagizi be okuyingira ekidaala mu kuziika Med Kaggwa.

Omu ku baserikale abakuuma Omumyuka wa Pulezidenti ng’agezaako okutangira Bobi Wine (mu gaalubindi) n’abawagizi be okuyingira ekidaala mu kuziika Med Kaggwa.

OKUZIIKA Med Kaggwa eyabadde ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu kwaggweeredde mu ttiyaggaasi nga poliisi erwanagana n'ebbiina ly'abantu abaabadde bagoberera omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine'. Bobi Wine mu kutuuka, yasanze Ssaabalamuzi Bat Katureebe amalirizza okwogera ng'omumyuka wa Pulezidenti yaddako.

Olwayingidde, abantu ne batandika okukuba enduulu okuziika ne kusooka kucankalana, abaserikale ba Ssekandi basoose kumugaana kuyingira ekyawalirizza abaabadde abateesiteesi okubiyingiramu ne bamukkiriza kyokka banne be yabadde nabo okwabadde Eddie Mutwe akola ku byokwerindabye kwe, Joel Ssenyonyi ayogerera People Power, Hilderman, Kyuma Kyayesu n'abalala abaabadde bamuwerekeddeko ne basigala ku mulyango.

Bwe yatuuse munda yabuuzizza ku bakulu be yasanze okumpi ne we yatudde kyokka baminisita abaabaddewo teyababuuzizza n'abakubira kajjambo. Aboogezi ab'enjawulo baagenze mu maaso n'omukolo kyokka ku ssaawa nga 8:00 bwe yasituse okugenda ku ntaana, ebbiina ly'abantu ne bamugoberera nga bwe bakuba enduulu.

Mu kaseera kano, Ssekandi ne Katureebe baabadde bavaayo ku ntaana.Poliisi y'e Mpigi eyabadde eduumirwa Bernard Akankwasa yabiyingiddemu n'ekoma ku bantu obutagoberera Bobi Wine ng'agenda ku ntaana kyokka ng'eyiwa nsaano ku mazzi. Bwe yavudde ku ntaana yatambuzza bigere nga bw'awuubira ku bantu ng'emmotoka nazo zitambula mpola nga bwe zimugoberera.

Embeera yayongedde okutabuka ng'abantu beeyongera kuyiika poliisi n'emulagira alinnye mmotoka ye agende kye yagaanye.

Yatambuddeko akabanga nga poliisi bw'eziyiza abantu okumugoberera kyokka nga tebawulira ekyagiwalirizza okukuba ttiyaggaasi abantu ne babuna emiwabo Abaserikale ba poliisi baalabye embeera eyongera kutabuka ne bamukaka n'alinnya emmotoka ye n'avuga n'agenda mu maaso.

MOSES KIGONGO YASABYE ABAKULEMBEZE OKUWUMMULA

Omumyuka wa ssentebe wa NRM, Hajji. Moses Kigongo mu kwogera mu kuziika Kaggwa yagambye nti, abakulembeze basaanye basiibule ng'abantu bakyabaagala ku nsi kuno.

Olwayogedde bino, ebbiina ly'abantu abaabadde bazze okuziika ne bakuba emizira ne bamusaanikira. Hajji Kigogo yasiitaanye okubannyonnyola kye yabadde ategeeza kyokka nga tebakyawulira.

Yasoose kubasaba badde eri Katonda nga bakyali balamu n'agamba ekijja okutwala abantu mu geyena butawuliriza kubanga naye tebaamuwulirizza ne bamutegeera bubi ng'ate ye yabadde ategeeza kirala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu