TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalina emigabo mu Vision Group basanyukidde amagoba ge baakoze

Abalina emigabo mu Vision Group basanyukidde amagoba ge baakoze

Added 23rd November 2019

Abalina emigabo mu Vision Group basanyukidde amagoba ge baakoze

 Akulira Vision Group, Robert Kabushenga (atudde ku kkono, Ssentebe omuggya Patrick Ayota, Polof. Chibita eyawummudde n’olukiiko olupya olufuzi.

Akulira Vision Group, Robert Kabushenga (atudde ku kkono, Ssentebe omuggya Patrick Ayota, Polof. Chibita eyawummudde n’olukiiko olupya olufuzi.

BANNANNYINI migabo mu kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde basanyukidde amagoba kkampuni g'ekoze mu mwaka gw'ebyensimbi oguwedde ne bagamba nti newankubadde galabika ng'amatono kyokka abagikulira bafubye okugiyimirizaawo obulungi. Baasinzidde mu lukiiko lwa bannanyini migabo olwa buli mwaka olwatudde ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area ku Lwokuna.

Mu lukiiko luno mwe baayanjulidde ssentebe w'olukiiko olufuzi omuggya Patrick Ayota ng'adda mu bigere bya Polof. Monica Chibita eyawummudde. Chibita yalangiridde nti omwaka gw'ebyensimbi 2018/19 ogwakomekerezeddwa nga June 30, kkampuni yakoze amagoba ga buwumbi 2.1 okwawukana ku mwaka 2017/18 mwe yakolera obuwumbi 2.4.

Ku magoba g'omwaka guno, bannannyini migabo baafunyeeko akawumbi kamu n'obukadde 900 nga buli mugabo bagusasudde 25/-. Polof. Chibita yawummulidde wamu ne Oode Obella oluvannyuma lwa bombi okuweereza ku lukiiko olufuzi okumala emyaka 9.

Abaalondeddwa ku bwadayirekita kuliko: Moses Mwase ne Peter Kawumi ate ye Sarah Irene Walusimbi ne Aeko Ongodia baalondeddwa okujjuza ebifo bibiri ebyabo abaawummudde.

Patricia Ojangole yalondeddwa atuule ku kakiiko akabalirizi k'ebitabo. Akulira Vision Group, Robert Kabushenga yagambye nti ekimu ku biyambye kkampuni okubeera ng'etuuka ku buwanguzi, tewali kusika muguwa mu bukulembeze. Yayongeddeko nti Polof. Chibita yalese alambise kkampuni ekkubo ly'erina okukwata era tagirese mu masang'anzira.

Yakakasizza bannannyini migabo nti olukiiko olufuzi oluliwo mu kiseera kino lwamaanyi okusinga ku nkiiko ezaali zibaddewo ne yeeyama nti waakukola kyonna ekisoboka okulaba ng'amagoba ga bannannyini migabo galinnya.

Kabushenga yannyonnyodde nti okusinziira ku lipooti ya Reuters Institute, Digital News Report 2019, abantu abasoma amawulire bagenze bakyusa emikutu kwe balina okugasomera. Abantu ebitundu 71 ku 100 baagala mikutu gya yintaneeti nga ‘social media' ne ku simu ez'omu ngalo.

Embeera eno y'emu etataaganyizza empapula z'amawulire mu Uganda kubanga okunoonyereza kulaga nti abasomera amawulire ku yintanenti bali ebitundu 16 ku 100 ate abagasomera ku mpapula bali ebitundu 4 ku 100.

Ekitongole kya ABC kyafulumizza lipooti omwaka guno ng'abagula empapula z'amawulire beesazeeko ebitundu 3 ku 100 okwetooloola Africa wabula mu Uganda, empapula za Vision Group okuli New Vision ne Bukedde zikyefuze akatale mu kuyingiza ssente n'okutunda kkopi ennyingi. Wabula bwe baayise Andrew Muhi eyayogedde ku lwa bannannyini migabo yeewuunyizza okubeera nga New Vision yayingiza obuwumbi 90 kyokka amagoba ne gabeera obuwumbi 2.1.

Yajjukizza ebyafaayo nti mu 2006 kkampuni yakola obuwumbi 29.6 ng'efuna amagoba ga buwumbi 2.4. Tumuhimbise yalaze okwennyamira ng'agamba nti Bannamawulire abakoze okumala ekiseera nga bafunye obumanyirivu obumala bagenze balekawo omulimu gw'okuwandiika ne baddukira mu bitongole okukola egy'okubyogerere ewali ku misaala emisava.

Yasabye abakulira kkampuni nakyo bakirowoozeeko kkampuni ereme kufi irwa bantu be batendekedde ebbanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...

Abamu ku baana b'omugenzi Kafeero ku kkooti.

Abaana ba Kafeero bakyeremy...

KKOOTI etawulula ensonga z'amaka e Makindye etandise okuwulira omusango gw'abaana 10 ab'omuyimbi Paul Kafeero,...

Maama w'abaana ng'abinuka.

Maama w'abaana essanyu limu...

Maama w’abaana ono y’omu ku bawagizi b’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu era Pulezidenti w’ekibiina kya NUP. Bwe...

Omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Joseph Anthony Zziwa nga akwasa abamu ku batuuze ente omwabadde n'ab'enzikiriza ez'enjawulo. Babadde ku kigo e Mirembe Maria EKIF LUKE KAGIRI

Agabye ente 50 n'alangirira...

Essaza lya Kiyinda Mityana lirangiridde kaweefube ow'enjawulo ow'okukulaakulanya abantu mu byenfuna n’ebyobulamu...