TOP

Bryan White byongedde okumwonoonekera

Added 23rd November 2019

Bryan White byongedde okumwonoonekera

 Bryan White

Bryan White

OMULI wa ssente, Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White ali mu kattu lwa bbanja lya bukadde 1000.

Ekitongole kya poliisi ekikola ku buzzi bw'emisango egy'amaanyi ekya Directorate of Criminal Investigations kyekyamukutte ku Lwokutaano ku bigambibwa nti yatwala emmotoka ez'ebbeeyi nga tasasudde ate ne landiloodiwe amubanja.

Ng'akwatiddwa mu bamubanja mwe mwajjidde ne Capt. Mike Mukula eyategeezezza nga bwe yakwatiddwa olw'okweyita ow'amaanyi nantagambwako n'ebirala.

Mukula ye ssentebe wa NRM mu buvanjuba bwa Uganda, Bryan White yamusanze ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

 byekwerinda nga bazinzeeko amaka ga ryana hite okutwala emmotoka zeyaliraako amabanja Abeby'okwerinda nga bazinzeeko amaka ga Bryana White okutwala emmotoka zeyaliraako amabanja

 Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, ASP. Charles Twine yategeezezza Bryan White yakwatiddwa lwa kufuna mmotoka mu lukujjukujju.

Yategeeza nti Bryan yabalaze nga bwe yagula emmotoka ku Yassah Matovu Seguya n'alaga ne lisiiti za bbanka kyokka baagenze okuzeetegereza nga nkadde zezimu ku ze yakozesa mu kugula emmotoka ezaasooka ate nga z'alaga ng'empya ez'emmotoka ezaasembayo z'ataasasula. Nti kino kye kireetera poliisi okwebuuza oba nga Bryan teyalina kigendererwa kubba Yassah Matovu. Nti n'emmotoka ezoogerwako, tezaagoberera mateeka ga nsi yonna ag'ekitongole kya poliisi y'ensi ekya Interpol ekirina okukakasa nti emmotoka zonna ez'ebbeyi bwe ziba zitambuzibwa mu nsi, kirina okusooka okumanya ebizikwatako n'entambula zaazo.

 bimu ku byuma ryan hite byabadde avuga Ebimu ku byuma Bryan White by'abadde avuga

Bryan White yakwatiddwa kuva mu makage e Buziga mu ggombolola y'e Makindye n'atwalibwa ku poliisi n'emmotoka bbiri ezoogerwako. Emmotoka eyokusatu yalondoddwa n'ekwatibwa ku luguudo lw'e Ntebbe. Buli emu egula obukadde nga 350.

Mu July wa 2018 era poliisi yalumba Bryan White nga kigambibwa nti yali yafuna emmotoka mu bukyamu. Ku olwo eyogerwako yali ya Mercedes Benz Cross Country, Bryan White gye yategeeza nti yagigula ddoola 100,000 mu za Uganda obukadde nga 370 n'asigala ng'abanjibwa era ebbanja lye lyamukwasa ku olwo.

Mukula yategeezezza poliisi nti abanja Bryan White amubanja balansi wa bukadde 200.

Landiloodi naye amubanja obukadde 500.

Ebirala ku Bryan White

ryan White yanzalamu omwana kati wa myaka 17 - Nabwemagehttps://www.bukedde.co.ug/bukedde/ag%E2%80%99eggwanga/1475819/bryan-white-yanzalamu-omwana-kati-wa-myaka-nabwemage

Bryan White b'azze aneneng'ana nabo

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1507832/bryan-white-bazze-anenengana-nabo

Ensonga z'ebbanja lya Bryan White zikutte enkandaggo

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1495512/ensonga-zebbanja-lya-bryan-white-zikutte-enkandaggo

ryan White bamuwadde ennaku 14 okwewozaako ku musango gw'obukadde 135 ezimubanjibwa;

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1506597/bryan-white-bamuwadde-ennaku-14-okwewozaako-ku-musango-gwobukadde-135-ezimubanjibwa

Bryan White bamututteko emmotoka ye n'atunula ebikalu;

https://www.bukedde.co.ug/bukedde/amawulire/1481634/bryan-white-bamututteko-emmotoka-ye-natunula-ebikalu

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...