TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba SASAKAWA balambudde abalimi mu bitundu eby'enjawulo ne basiima abongodde ku mutindo

Aba SASAKAWA balambudde abalimi mu bitundu eby'enjawulo ne basiima abongodde ku mutindo

Added 24th November 2019

Aba SASAKAWA balambudde abalimi mu bitundu eby'enjawulo ne basiima abongodde ku mutindo

 Abakungu ba SASAKAWA nga balambula abalimi

Abakungu ba SASAKAWA nga balambula abalimi

MUKAWEEEFUBE w'okulwanyisa obwavu mu maka,okutumbula endya ennungi ,okulwanyisa enjala n'okwongera omutindo ku birime ekitongole ky'obwanakyewa ekya SASAKAWA Global 2000 nga kiyambibwako aba IFAD balambudde abalimi mu disitulikiti ez'enjawulo.

Okulambula kuno kwatandikidde mu disitulikiti ye Kamuli mu Busoga ng'eno balambudde abalimi ba ssoya ab'enjawulo era nga babalaze ebintu eby'enjawulo bye bafunye okuva mu kulima ssoya okuli okusomesa abaana,okuzimba amayumba,okugula ettaka,okufuna emirimu ne ssente n'ebiralala.

Bano oluvannyuma beyongedeyo mu disitulikiti ye Nakaseka gye balambulidde abalunzi b'embizzi ,enkoko n'abalimi ba kasooli,emmwanyi ,ebitooke, enva  nga bangi ku bano basobodde okwongera omutindo ku bintu bye bakola nga beyambisa amagezi agabaweebwa aba Sasakawa n'abalimisa baabwe ab'omubitundu.

Abamu ku bammemba abalambuddwa kuliko Ruth Sseruwu,steven Sseruwuma,James Kasakya,Henry Ssebyala n'abalala.

James Murangira avunanyizibwa ku makungula n'omutindo yagambye nti abalimi bangi balemedde mu bwavu olw'obutamanya ng'eri gye bayinza kwongera mutindo ku bintu bye bakola nga yensonga lwaki bavaayo okubayigiriza ennima ey'omulembe ssaako okulima emmere ekula amangu ate nga yattunzi

Yagambye bakyusiza obulamu bwa bantu abasoba mu 10,000 mu disitulikiti ez'enjawulo okuli Gulu,Lira,Kamuli,Tororo,Iganga,Buikwe,Mukono,Luweero,Kiboga ,Nakaseke n'endala.

Ate ye Juliet Nakitende avunaanyizibwa ku kutekerateekera n'okulonda ebikolebwa mu Sasakawa  yasabye gavumenti eyambe abalimu okubasembereza ebikosebwa n'okola amakubo kibanguyize okutusa ebirime bya bwe mu butale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...