TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya ssentebe gwe baakwatidde mu bwenzi ne muk'omusajja biranze

Ebya ssentebe gwe baakwatidde mu bwenzi ne muk'omusajja biranze

Added 24th November 2019

Ebya ssentebe gwe baakwatidde mu bwenzi ne muk'omusajja biranze

 Nannyonga ne ssentebe Ndawula nga bambala.

Nannyonga ne ssentebe Ndawula nga bambala.

SSENTEBE w'ekyalo gaamumyuse bwe yakwatiddwa lubona ng'asinda omukwano ne muk'omutuuze we, abatuuze ne babakunguzza ku kyalo kumpi nga bali bukunya.

Ndawula Mutebi ssentebe wa LC1 mu Nyendo, Kiyirikiti mu Masaka yakwatiddwa ne Hadijah Nannyonga muka Abdul Nkoba ng'ono muvubi ku kizinga ky'e Lugyabwa.

Nkoba ne mukyala we baakamala mu bufumbo emyaka 18 era nga baabawoowa nga balina abaana bataano. Nkoba agamba nti ekiseera kyatuuka n'atandika okwekengera mukyala we nti yandiba ng'aliko omusajja gw'aganza ku kyalo. Abamu ku batuuze baavaayo ne bamubbirako nti ssentebe yennyini y'amwagalira omukazi.

Bino byali biri bityo, n'amaka ga ssentebe ne gatabuka nga kigambibwa nti, naye mukyala we yawulira ebigambo nti, bba ayagala mukyala Noba era ye mukyala ssentebe n'anyiiga nnyo n'anoba.

ENGERI GYE BAAKESSE SSENTEBE

Nkoba agamba nti, ku Lwokuna ekiro yafuna essimu okuva ku kyalo ng'emutegeeza nga bwe balabye mukyala we ng'agenda ewa ssentebe. Yasitukiddemu n'akwata eryato era bwabadde bukya n'atuuka mu Nyendo.

Yakwataganye butereevu n'abaamukubidde amasimu ne bamukakasa nti, omukazi yabadde ayingidde ewa ssentebe.

Eyabadde alondoola yategeezezza Nkoba nti ye yalondodde mukazi we okuva lwe yafulumye mu nnyuma okutuuka ewa ssentebe. Mbega yategeezezza Nkoba nti mukyala we bwe yatuuse ku ggeeti ya ssentebe, n'akuba essimu era waayiseewo akaseera katono ssentebe n'ajja n'amuggulira.Baayingidde olwo abaabadde ku mulimu gw'okuliimisa ne basigala wabweru.

NKoba bwe yatuuse, ne beekuhhaanya ne banne kyokka ne basalawo ye abeeko we yeekweka bo bakonkone ssentebe, era kye yakoze. Abatuuze baakonkonye ssentebe ne bamutegeeza nga bwe bafunye obuzibu nga baagala ajje abayambe.

Wabula yabazizzaamu kkabyo ng'ababuuza buzibu ki obwo bwe bafunye obutasobola kugumiikiriza budde kukya. Abatuuze baalemeddeko ekyawalirizza ssentebe okubaggulira. Yajjidde mu ttawulo n'ababuuza kye baabadda bamwetaaza. Amangu ago baamubuulizzaawo muntu ki gwe yabadde naye mu nnyumba.

Yasoose kusirika bano kwe kumulagira abatwale mu kisenge. Awatali kuwalira era ng'alabika atidde nnyo, yabatutte mu kisenge gye baasanze Nannyonga ng'agalamidde ku bulili kyokka nga naye yabadde bukunya.Nannyonga baamusikambudde ku buliri ne bamulagira afulume ennyumba.

Mu kavuvuhhano kano Nannyonga yasobodde okwambala ppeti kyokka nga talina ky'ayogera. Bano bombi baabafulumizza ne babakunguzza kumpi nga bali bukunya okubatuusa ku poliisi y'e Masaka olwo Nkoba n'aggula ku mukyala we omusango.

Omusirikale wa poliisi eyakwasiddwa omusango guno ye Eseza Matsiko nga gwateereddwa ku ffayiro nnamba SD:REF:43/09/11/2019, nga omusango guno gugwa mu kiti kya butabanguko mu maka era nga Nkoba gwe yaggudde ku mukyala we.

Abakwate bombi baateereddwa ku kakalu ka poliisi kyokka oluvannyuma, Nkoba yagaanyi mukyala we okudda mu maka era mu kiseera kino Nannyonjo alina ewa mukwano gwe we yeewogomyeko nga bw'agezaako okwegayirira bba amuzze mu maka. Era Nannyonga yategeezezza nti, wadde yasobezza talina musajja mulala gw'agenda kuwangaala naye okuggyako Nkoba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nga bateeka omulambo gwa Bisaka (ku ddyo) mu nnyonyi okugutwala e kapyemi. Eyeeyita Katonda alese ebyafaayo.

Eyeeyita Katonda alese ebya...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Owobushobozi Bisaka ziri mu ggiya. Omulambo gwe okuva e Nairobi gwaleeteddwa mu nnyonyi...

Ggaadi eziwedde okukola.

Okwokya ggaadi za bodaboda ...

BW'OZITUNUULIRA kungulu oyinza okulowooza nti ziggyibwa bweru wa ggwanga olw'endabika yaazo ennungi. Ggaadi zino...

Bannabyamizannyo tuleme kus...

LIIGI z’emizannyo zigenda ziddamu okukwajja era kiraabu nnyingi kati zitendekebwa. Empaka z’Amasaza zo mwattu zaagondedde...

Abaserikale abaabadde balawuna ekitundu.

Okulonda e Njeru tekujjumbi...

Okulonda mu mu munisipaali y'e Njeru kusoose kutaataaganyizibwa nkuba ekedde okufuddemba era abalonzi obwedda baamuswaba...

Abawagizi ba NUP nga bakulisa Zaituni maama wa Nsubuga.

Owa NUP gwe baasiba mu kkom...

Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n’atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala. Bazadde...