TOP

Kirumira bamukubye ne bamwambula engatto

Added 25th November 2019

Kirumira bamukubye ne bamwambula engatto

 Kirumira nga yeenyoola n’abakozi ba Dr. Khingi e Muyenga.

Kirumira nga yeenyoola n’abakozi ba Dr. Khingi e Muyenga.

Abajaasi ba miritale we baatuukidde nga Godfrey Kirumira ali mu bigere byereere, alina ekiwundu ku kugulu ekivaamu omusaayi, asaabaanye ebisooto ng'ayogerera waggulu ng'awejjawejja. Olwo abaserikale baabadde bamaze okumukuba mu lutalo lw'ettaka okuliraana woteeri ya Kirumira eya Hotel International e Muyenga.

Kyokka ne Kirumira yalabiddwa ng'abalwanyisa ng'ali ne mukyala we, Susan Kirumira. Oluvannyuma Susan yawadde bba eccupa y'amazzi n'amugamba: Ddadi nywa ku mazzi abasajja babadde bakusse. Olutalo lwaddiridde Dr. Ben Khingi ow'e Mulago okugula ennyumba.

Kigambibwa nti yagigula mu bbanka oluvannyuma n'aleeta tulakita okugaziya oluguudo olugenda ewuwe. Poloti okuli wooteeri ya Kirumira etuuka ku luguudo olwo. Ekkubo erigenda ewa Dr. Khingi litwala emmotoka emu. Ku Lwomukaaga yaleese tulakita okuligaziya.

Kirumira eyabadde munda mu wooteeri bwe yategedde n'afuluma mu mmotoka ye "Range Rover" ne mukyala we n'alagira tulakita zireme kusenda. Abakozi b'oluguudo abaabadde bakuumibwa amagye baagaanyi okugondera ekiragiro kya Kirumira.

Amagye gaamulagidde aveewo mangu oba alina ky'ayagala ayogere ne mugagga munne. Kirumira yakalambidde n'ayimirira mu maaso ga tulakita nga bw'aleekaanira waggulu nti "munninnye. Oba munzita munzite". Yalumbye omu ku bazimbi b'ekikomera ekigaziyizibwa okuva ewa Dr. Khingi okutuuka ku nsalo ne Kirumira ne bakwatagana.

Amagye n'abazimbi baakutte Kirumira ne bamukuba wansi. Abakozi mu wooteeri ya Kirumira baafulumye ne batandika okukasuka amayinja n'okuwoggana. Amagye gaalabye bitabuse ne galeka Kirumira olwo n'abazimbi ne badduka. Oluvannyuma lw'essaawa emu, poliisi yazze ate n'eragira tulakita zigende mu maaso. Kirumira eyabadde azzeeyo mu wooteeri ye yakomyewo n'ekibinja ky'abakozi ate olutalo ne luddamu buto.

Baabadde bakyenyoola, omugagga Hamis Kiggundu (Ham) n'ajja n'asanga nga Kirumira akyenyoola n'abakozi ba Dr. Khingi. Abajaasi ba miritale bazze ne bayimiriza buli kintu. Abaserikale baakutte abamu ku bazimbi n'abajaasi abaabadde munda mu kikomera kya Dr. Khingi ne batwalibwa ku poliisi e Kabalagala ne tulakita eyabadde esenda.

Kirumira yagguddewo omusango ku poliisi ogw'okumukuba ate abakozi ba Dr. Khingi nabo ne baggulawo ogwa Kirumira okubakuba.

Omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigire yategeezezza Bukedde eggulo nti Kirumira yasisinkanye ne Lt. Gen. Charles Angina (Angina yakiikiridde Dr. Khingi) ne bakkaanya okuggyayo emisango ku poliisi, abaakwatiddwa bayimbulwe, ensonga bazimalire mu kuteesa.

Kyokka yagambye nti Kirumira ne Angina baabadde tebannaddira poliisi era bambega bakyagenda mu maaso n'okukola ogwabwe. Ssentebe wa LC1 owa Muyenga, Yassin Omar yategeezezza nti akakiiko ke kawagira okutereeza oluguudo. N'agamba nti tebaagala kubaako afiirwa.

 Ttulakita eyabadde esenda ekkubo.

Wabula Dr. Khingi ye yabalaga ekyapa kye kyokka Kirumira takibawanga. "Kirumira tuludde nga tumuyita ku LC n'agaana okujja. Kirumira yasimba dda ebikondo waakoma, n'azimba n'ekikomera kwe yassa akatimba.

Siraba nsonga lwaki ate Kirumira agaana okukola ekkubo erikozesebwa abantu bonna", Omar bwe yagambye. N'agattako nti Kirumira mukwano gwe era ayagala ensonga ziggweere mu kuteesa.

Dr. Khingi tetwasobodde kumufuna kubaako by'annyonnyola ku nsonga eno. Kyokka looya we yagambye nti balina ekyapa n'ebiwandiiko ebiraga nga Kirumira talina kakwate ku ttaka lya luguudo eryo. "Kirumira twamuyita tusooke tukkaanye nga tetunnasenda kyokka n'agaana.

Ensonga twazitwala mu LC era Kirumira n'atajja. Ekirungi kati yakkirizza okuteesa, bijja kuggwa", looya bwe yagambye. KIRUMIRA annyonnyola Yategeezezza nti ekkubo lirudde nga weeriri.

Dr. Khingi lwaki ava ku kukola ekkubo ate n'ayingira mu ttaka lya wooteeri? N'agamba: konteyina zange ezitudde ku ttaka lye baagala okusenda ziyinza okugwa n'okusuula wooteeri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...