TOP

Nakakande yeesunga ngule ya Miss World

Added 25th November 2019

Nakakande atandise namaanyi mu mpaka Miss World. yesooze fayinolo mu mutendera gw’okumoddola nga boolesa emisono

 Nakakande

Nakakande

Oliver Nakakande nnalulungi wa Uganda omujja atandise namaanyi mu mpaka za nnalulungi w'ensi yonna (Miss World) n'awa Bannayuganda essuubi ly'okusitukulira mu ngule y'omwaka guno.

Leero yesooze fayinolo mu mutendera gw'okumoddola nga boolesa emisono (modeling) ogumu ku mitendera egivuganyizibwako mu mpaka zino bw'amalidde mu bawala 10 abasooka.

 akakande owokusatu ku ddyo nabamu ku bawala bavuganya nabbo Nakakande ow'okusatu ku ddyo n'abamu ku bawala bavuganya nabbo.

Obuvumu n'obukugu mu kutambula ku siteegi ng'amoddola(cut-walk) bye bimu ku bimuyambye okuyitamu era abasazi b'empaka basanze akaseera akazibu okusunsulamu abawala 10 olw'omutindo omulungi bonna 40 abayisemu eggulo (ku Ssande) gwe bolesezza.

Kino kiwadde Bannayuganda essanyu n'essuubi nti Nakakande ayinza okukola obulungi mu mpaka z'omwaka guno okufaananako ne Quiin Abenakyo gwe yadidde mu bigere eyamalira mu batano abasooka oba ye okusingawo.

Ekumi abayisemu okugenda ku fayinolo kuliko; Brazil, Czech Republic, France, Hong Kong China, India, Kazakhstan, Nigeria, Trinidad & Tobago, Uganda ne Vietnam.

Nakakande avuganya n'abawala abalala 129 okuva mu nsi ezenjawulo mu mpaka eziyindira mu kibuga London ekya Bungereza,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...