TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lwe nasooka okulaba Mutesa namulindira essaawa 6

Lwe nasooka okulaba Mutesa namulindira essaawa 6

Added 25th November 2019

NNEEBAZA Katonda okuntonda n’anteekawo ne kitange omugenzi Yuda Dungu Kaboggoza eyali ayagala ennyo eggwanga lye ne Kabaka, nange n’abinjagaza.

 Ssekabaka Mutesa ku mukolo ogumu

Ssekabaka Mutesa ku mukolo ogumu

Kitange yantendeka mu mirimu gye yali akola egy'okukola eddagala. Yali akola eddagala eriyitibwa "Bangibalisiima" eryali livumula; sennyiga, omutwe, kinsimbye n'endwadde endala. Yali musuubuzi ng'akola bbandi ezikubwa n'okuyigiriza abantu naddala abaamasomero.

 
Yantendeka n'atuuka n'okuntwala mu Lubiri ne ndaba ku Ssekabaka Muteesa II nga ndi mu myaka 18, ekintu ekyanfuula mukwano gw'Obwakabaka n'okutuusa leero.
 
Olunaku lwe twagenda okusisinkana Ssekabaka Muteesa mu Lubiri, twakeera era mu Lubiri twatuukayo ku ssaawa 4 ez'oku makya. Kitange yali yalaga era ng'akkiriziddwa okulaba Kabaka.
 
Twagenda emmanju wa Twekobe, Ssekabaka Muteesa gye yali ng'akyawummudde ne tumulinda okutuusa ku ssaawa 10 ez'olweggulo. Wadde twalinda nnyo, naye nga mpulira mmwesunze era nga saagala kuseguka.
 
Twagenda okuwulira ng'amakondeere n'ehhoma bivuga ne batuyita okugenda okumulaba. Kitange yasooka kweyanza n'amala n'annyanjulayo n'ategeeza Muteesa nti; "Ono ye mutabani wange", n'atusanyukira okutulaba.
 
Nasanyuka nnyo okulaba Kabaka ne nnyongera okumwagala olw'engeri gye yatusanyukira okutulaba n'okutugabula, okuva olwo nange ne nfuuka mukwano gwe era naddamu ne mmusisinkana emirundi egisukka mu 3.
 
Ebiseera ebyaddako byali bya byabufuzi ng'eggwanga lisaba okwefuga. Ebibiina byobufuzi byaliwo bibiri; DP eyali ekulemberwa omugenzi Ben Kiwanuka ne UPC eyali ekulemberwa Milton Obote.
 
Buganda yali ya maanyi ng'erina Olukiiko olwayo, newankubadde mu gavumenti waaliyo olukiiko lwa LEGCO, naye olwa Buganda lwalina eddoboozi ddene mu byateesebwanga mu Buganda ne mu Uganda.
 

 

Olw'okuba Bungereza ye yali etwala ne Kenya, ng'etaddeyo enfuga y'ettwaale, n'eyagala enkola eyo egireete ne wano.
 
Gavana Cohen yamanya nti Ssekabaka Muteesa yali wa maanyi era yamuyita enfunda eziwerako ng'ali ne Katikkiro wa Buganda eyaliko ebiseera ebyo Paul Kavuma, n'abalagira okuwagira enfuga eno eya ‘Colony', naye Kabaka n'Olukiiko nga tebagyagala.
 
Olumu Cohen yayita Ssekabaka Muteesa ne Katikkiro we, omuwanika wamu n'omulamuzi wa Buganda okugenda e Ntebe, bwe baatuukayo, n'abasomera ekiwandiiko n'alagira Kabaka okukiteekako omukono.
 
Ssekabaka Muteesa yayimirira n'ategeeza Cohen nti ; "Ekiwandiiko ky'osomye sigenda kukiteeekako mukono, okuggyako ng'otukkiriza ne tuddayo ne twebuuza ku Lukiiko, kuba enkola yaffe tufugibwa Lukiiko lwa Buganda."
 
Kino kyanyiiza Gavana Cohen n'ayingira mu kisenge, bwe yakomawo, n'alagira abaali bagenze ne Ssekabaka Muteesa bafulume okuggyako ye, n'abagamba nti kati Kabaka takyamubala nga Kabaka, agenda kuwahhangusibwa. Emmotoka zaaliwo wabweru ezaamutwala ku kisaawe ky'ennyonyi n'atwalibwa e Bungereza.
 
Enkeera, Katikkiro Kavuma n'ayita Olukiiko, n'alubuulira ebyabaddewo e Ntebe nga bw'akaaba n'amaziga. Buganda yatabuka ne wabaawo okuteesa, kwe kufuna bapuliida ba kuno n'abe Bungereza ne bawawaabira Gavana Cohen ne Bungereza okuwamba Kabaka waabwe n'okumenya endagaano gye baali bakoze nti Buganda yali ekuumibwa bukuumibwa (protectorate) nga Bungereza erina okukuuma Buganda ne Kabaka.
 
Omusango Abaganda baagusinga, Ssekabaka Muteesa n'ateebwa n'akomawo mu ssanyu ery'ekitalo.
 
Mu ssanyu ery'ekitalo, Abaganda baafuna ekigambo nti twagala Kabaka Yekka (KY) ekyo ne kifuuka ekibiina kyobufuzi, era ekibiina ekyo n'ababaka baakyo ne beegatta ku UPC, wabula omugenzi Ben Kiwanuka n'ekibiina kye ekya DP tebaawagira Kabaka Yekka, ye Obote n'akkiriza UPC okwegatta ku KY n'awagira Kabaka.
 
Kino kyaliwo nga bagenze e Bungereza okuteesa Uganda yeefuge, UPC n'ewagira byonna byonna ebya Buganda, era UPC yasuubiza Buganda okugiwa Federo n'okugiddiza amasaza, naye byonna baali balimba teri kye batuukiriza.
 
Twali tufunye Katikkiro omupya Michael Kintu, abaali batambuza ensonga nga twagala n'okufuna enfuga ya Federo era byali bikkiriziddwa.
 
Mu myaka gya 1960, wajjawo akatabanguko nga, Obote aleese akalulu k'ekikungo akaavaako okuzzaayo amasaza ga Buganda abiri; Buyaga ne Bungangaizi e Bunyoro.
 
Obote yasimbira n'enkola ya Federo ekkuuli, n'atandika enkola enyigiriza Buganda, omukago gwa Kabaka Yekka ne UPC ne gufa, ekyaddirira kulumba Lubiri n'okugoba Muteesa ku Bwapulezidenti.
 
Ebiseera ebyo nali mbeera Nateete, naye amasasi gaatokota mu Lubiri nga naffe eno gye tuli tugawulira nga agali mu nju zaffe.
 
Kyali kisa kya Mukama Ssekabaka Muteesa okusimattuka, yatambuza bigere ng'agenda yeekweka okutuusa bwe yatoloka natuuka mu buwanganguse e Bungereza, yayita Rwanda.
 
OBOTE AKOLA EKY'OBUKAAFIIRI
 
Ekiseera ekyaddako kyali kya kazigizigi, nga waakayita emyaka esatu, twawulira nti Beene e Bungereza gye yagenda baali bamulumbyeyo ne bamuttirayo.
 
Amawulire gaatukuba ekiyongobero, Obote n'alyoka akola eky'obukaafiiri bwe yatemesa emiti ne bagisuula mu makubo agatuuka ku kkanisa e Namirembe nti tuleme kugendayo kusabira Ssekabaka Muteesa, naye naffe twalemerako ne tugiggyawo era ne tugenda ne tusaba.
 
Mu kusaba okwo, buli omu yasaba Katonda atuggyirewo Obote eyali asaanyizzaawo Kabaka waffe, buli omu esaala eno yagitwala nga nkulu ey'okusabira Obote aveewo, era waayita akaseera katono, Amin n'amuwamba mu 1971, n'amukunkumula omukono mu kibya.
 
Bwe baakomyawo enjole mu 1971, buli omu yakungubaga, abantu ne basimba ennyiriri empanvu ze baasulangamu ekiro n'emisana okulaba ku mwagalwa w'abangi.
Ennyiriri zaavanga Bulenga okutuuka ku lutikko e Namirembe enjole gye yali.
 
Abantu tebaddayo kwebaka mu mayumba gaabwe okutuusa lwe yaterekebwa mu masiro e Kasubi.
 
Nga Ssekabaka Muteesa amaze okukisa omukono, nagendako e Bungereza okulaba ku batabani bange, ne nsisinkana ne ku Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II.
 
Twalabagana ne tunyumya bingi era omukwano gwe nalina ku Ssekabaka Muteesa ate ne ngufuna ne ku Kabaka Ronald Mutebi.
 
Bwe twali e Bungereza, Ssaabasajja yansuubiza nti, bw'alidda agenda kujja asabireko mu kkanisa eyazimbibwa e Busega eya Uganda Martyrs Church, awattirwa abajulizi abaasooka nga 1/01/1886 okwali; Yusuf Lugalama, Makko Kakumba ne Noah Sserwanga.
 
Okuzimba ekkanisa eno, Katonda yayogera nange mu kirooto nga ndi mu nsi entukuvu mu Yisirayiri .
 
Be nategeeza ku nsonga eno, baakitwala nga eky'okusaaga naye Katonda n'akituukiriza.
 
"Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo, liweereddwa omukisa, abantu be yalonda okuba obusika bwe ye" Zabuli 33:12. AMIINA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abatuuze ku kyalo Kijjumba - Kabaale mu ggombolola y’e Lwanda e Rakai nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai balaajana olw'eb...

ABANTU mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola okuli Kasaali ne Nabigasa mu disitulikiti y’e Kyotera kw’ossa n’abomu...

Omukadde ng'asembera mu kusaba e Lukaya gye buvuddeko.

Okwebuulirira mu kisiibo

Essomo I: Yona 3:1 - 10 Katonda bwe yalaba baboneredde, teyabakola kabi (Cfr. Yon. 3:10) ...

Ethel Ssekiziyivu

'Nasaba Katonda n'okusiiba ...

ETHEL Ssekiziyivu mukyala w’omusumba Rev. David Ssekiziyivu. Agamba nti waliwo embeera ezitasobola kuvaawo awatali...

'Abakulembeze abalondeddwa ...

ABAKULEMBEZE mu kkanisa ne ku buli mutendera basabiddwa okweyambisa ekiseera kino eky’okusiiba okwefumiitiriza...

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa Lubaga...

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero...