TOP

'Mwegendereze emmere gye mulya'

Added 25th November 2019

Bannayuganda bakubiriziddwa okubeera abegendereza ku mmere gye balya naddala ey'empeke oluvanyuma lw'okukizuula nti kumpi ebitundu 20 ku buli 100 bibeeramu obutwa.

Bannayuganda bakubiriziddwa okubeera abegendereza ku mmere gye balya naddala ey'empeke oluvanyuma lw'okukizuula nti kumpi ebitundu 20 ku buli 100 bibeeramu obutwa.

James Murangira Mugunisa okuva mu kibiina kya SASAKAWA GLOBAL 2000 nga y'akulira entereka y'emmere ekunguddwa, asinzidde mu lukungaana lwabannamawulire olubadde ku imperial Royale mu Kampala nategeeza nti okunonyereza kuno kukoleddwa mu District za Uganda ezenjawulo era nebakizuula nti emmere naddala eyempeke ebeeramu obutwa bwatyo kwekukubiriza bannauganda okwongera okubeera abegendereza nga tebanagirya.

Ye Dr Roselline Nyamutale nga yakulira Ekibiina kya SASAKAWA GOBAL 2000 mu Uganda ategeezezza nti bakukwataganira wamu n'ebitongole ebyenjawulo omuli ne bannamawulire okulaba nga basomesa abantu kungeri gyebalina okuterekamu emmere ngemaze okukungulwa netakola butwa.

William Kyamuhangire omukugu mu byobulimi okuva e Makerere akubirize Bannayuganda okwewala okugula emmere etundibwa ku bisale ebya wansi okusobola okwewala okugwa ku mmere erimu obutwa.

Twogeddeko ne Charles Ssembatya okuva mu minisitule ya Agriculture n'ategeeza nga gavumenti bwe yabakana edda n'eddimu ery'okufuna abakugu abagenda okuyambako mu kutereka emmere eno ng'emaze okukungulwa okusobola okumalawo ekizibu ky'okukoka obutwa obuva ku ntereka y'emmere embi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...