TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 79 atutte bba mu boobuyinza lwa kumugoba mu nju n'awasa omulala

Ow'emyaka 79 atutte bba mu boobuyinza lwa kumugoba mu nju n'awasa omulala

Added 25th November 2019

NNAMUKADDE Ruth Nakyami ow’emyaka 79 addukidde mu boobuyinza n’aloopa bba Andereya Kunegena ow’emyaka 81 gwe bamaze naye emyaka 63 mu bufumbo olw’okumugoba mu maka gaabwe n’awasa omukazi omulala.

Kunegena ne mukyala we gw'agobaganya mu maka.

Kunegena ne mukyala we gw'agobaganya mu maka.

NNAMUKADDE Ruth Nakyami ow'emyaka 79 addukidde mu boobuyinza n'aloopa bba Andereya  Kunegena ow'emyaka 81 gwe bamaze naye emyaka 63 mu bufumbo olw'okumugoba mu maka gaabwe n'awasa omukazi omulala. 

Omukazi alumiriza bba okubeera omujoozi ow'ebbaluwa kubanga ku kusajjalaata agattako okuduula era yamutegeeza nti tamweguya kubanga ye abakazi bamuyaayaanira ate bw'anoga emmwaanyi ssente azimalira mu bakazi.

Bino bibadde ku kyalo Kirimampoca mu ggombolola y'e Kitimbwa mu disitulikiti y'e Kayunga. 

Nakyami yaddukidde mu ofiisi ya Collins Kafeero avunaanyizibwa ku bintu by'abafu, okukuuma n'okutumbala eddembe ly'obuntu e Kayunga n'aloopa bba Kunegena.

Nakyami agamba nti bba Kunegena yeekobaana ne bannyina okuli Mary Kukkiriza ne Spera Nafamba ne bamutulugunya ne bamulemesa obufumbo era bano be basendera mwannyinaabwe abakazi abalala.

 maka abafumbo bano mwe babeera Amaka abafumbo bano mwe babeera.

Nakyami agamba nti asobeddwa engeri balamu be gye batandika okwalira mwannyinaabwe obuliri. Era nti bba yatuuka n'okutunda ekibanja kye baatuuyanira bombi nga ye tategedde era ne ssente ezaavaamu yazirya na bakazi be.

Yasabye Kafeero n'abobuyinza abalala bamuyambe asigale mu maka ge yatuuyanira. Ono yakoze katemba ne yeebaka n'okwebikka ne yeebikka okukakasa nti taddamu kuseguka era wano oluyombo lwasituse wakati w'abaana n'abazzukulu.

Kunegena yeegaanye eky'okugoba omukazi era olunwe alusonga mu baana be nti be balemesezza obufumbo bwe nga baawaganyaza nnyabwe.

Kafeero ng'ali n'omutabaganya wa poliisi n'omuntu wa bulijjo, Paul Ssali baakubirizza abakadde bano okuddamu batabagane wabula n'alabula abaana okukomya okweyingiza mu bufumbo bwa bazadde baabwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...