TOP

Afaanana Kusasira ayagala kumusisinkana

Added 25th November 2019

Ono bamuyita Nansubuga Kusasira agamba nti okuva Pulezidenti Museveni lwe yawa Catherine Kusasira ssente n’emmotoka kyamusukkako abantu bwe bamulaba nga bamusaba ssente olw’okuba afaanana Kusasira nga n’abamu balowooleza ddala nti ye Kusasira omuyimbi.

 Kusasira ne Nansubuga (ku kkono) amwefaananyiriza.

Kusasira ne Nansubuga (ku kkono) amwefaananyiriza.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

Ono bamuyita Nansubuga Kusasira agamba nti okuva Pulezidenti Museveni lwe yawa Catherine Kusasira ssente n'emmotoka kyamusukkako abantu bwe bamulaba nga bamusaba ssente olw'okuba afaanana Kusasira nga n'abamu balowooleza ddala nti ye Kusasira omuyimbi.

Ekisooka, Nansubuga agamba nti yava dda ng'afaanana Kusasira ate nga ne gye yakulira e Makindye era baamukazaako lya Kusasira

N'e Mityana gye yazaalibwa era baamuwa lya Kusasira wabula ye Kusasira omuyimbi talina ky'amumanyiko.



iga ya usasiraFiga ya Kusasira.



Nga kimususseeko na ddala abantu abamuseera mu maduuka nga balowooza nti baseera Kusasira omuyimbi alina ne ku ssente, yasazeewo anoonye Kusasira amubuulire oba baaluganda.

Agamba nti Kusasira obuzibu bw'amuleetedde bungi kubanga olumu yatambulirako ku boda boda eyali agivuga yasooka kumubuuza mmotoka Pulezidenti Museveni gye yamuwa gye yagitadde.

 iga ya ansubugaFiga ya Nansubuga.
 


Ayagala kumanya oba Kusasira mugandawe. 

Nti bazaddebe be yandibuuzizza teyabalabako yakula baafa ate nga baamutuuma Kusasira

Abamu baalowoozezza nti ayagala Kusasira amutwale ewa Pulezidenti naye yefunire ku ssente oba Kusasira omuyimbi amuwe ku ze yafunayo.

 ansubuga ku ofiisi za ukeddeNansubuga ku ofiisi za Bukedde.

 

Ebirala ku Kusasira

Ebya Ebya Kusasira n'aba NRM bituuse mu Kabineeti
Aba NRM temunnwanyisa - Kusasira



 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...