TOP

Baggadde oluguudo lwa binnya

Added 25th November 2019

Abatuuze b'e Bugiri bavudde mu mbeera ne bateeka emisanvu mu luguudo lwe bagamba nti lujjudde ebinnya nga n'abalimi lubafiiriza olwa mmooka ezinona ebirime byabwe okulemererwa okuyitayo

 Abatuuze nga basimbye ebitooke n'okuziba ekkubo olw'ebinnya

Abatuuze nga basimbye ebitooke n'okuziba ekkubo olw'ebinnya

Bya Saul Wokulira

Abatuuze beekyaye ne basuula emisanvu mu luguudo ne baluggala nga beekalakaasa olw'abakulira disitulikiti okulemwa okuluddaabiriza.

Oluguudo lwe baggadde luva ku kyalo Bugiri ne lusala mu byalo bisatu okuli Kiribedda okutuuka e Mayaga.

Ssentebe wa LCI ku kyalo Kiribedda, Samuel Nsubuga agamba nti, oluguudo luno disitulikiti yakoma okuluddaabiriza emyaka musanvu egiyise ekirowoozesa abatuuze nti baaberabira.

 kkubo eryaggaddwa abatuuze olwebinnya Ekkubo eryaggaddwa abatuuze olw'ebinnya

 

Oluguudo luno oluwomoggose ebitagambibwa abatuuze bagamba nti, luvaako obubenje era nga twasanzeewo ne loole egudde.

Abalimi bagamba nti, ebirime byabwe okuli ennyaanya, emboga, kasooli, ennaanaasi n'ebirala bidibidde ku misiri olw'emmotoka ezibisomba okulemwa okutuukayo.

Balusimbyemu ebitooke, amayuuni n'okusuula ebiti.

Ssentebe wa disitulikiti, Tom Sserwanga agambye nti enkuba efudemba eyonoonye amakubo mangi era n'asaba abatuuze okubeera abakkakkamu kubanga oluguudo bajja kukola omwaka gw'ebyensimbi ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...