TOP

Abantu basatu e Mpigi babatemye lwa ttaka

Added 26th November 2019

ABATUUZE b’e Mpigi beekokkodde abagagga abakolagana ne poliisi ne bababbako ebibanja n’abaamagye abalwanyisa envuba embi abasusse okubatulugunya.

 Ssentebe w’e Buyiga, Balikoowa ng’ayanja ensonga ze. Ku ddyo ye Noordeen Ntege owa Bukedde

Ssentebe w’e Buyiga, Balikoowa ng’ayanja ensonga ze. Ku ddyo ye Noordeen Ntege owa Bukedde

Abatuuze okuva mu disitulikiti ye Mpigi, Gomba ne Wakiso baabadde mu Kimeeza kya Bukedde ekyategekeddwa ku kitebe kya disitulikiti e Mpigi ku Lwomukaaga.

Ssentebe w'ekizinga kye Buyiga mu ggombolola ye Kammengo mu Mpigi, Asuman Balikoowa yategeezezza nti waliwo ekibinja ky'abatuuze ku kizinga kino ekirumba abantu n'ebissi ne babatemaatema olw'enkaayana z'ettaka era abantu basatu be baakatemebwa.

Balikoowa agamba nti ekibinja kino kirina abakiwabya nti ettaka ly'ekizinga teririiko nnannyini lyo ng'ate si bwekiri.

Ekibinja ky'abantu bano baasooka kuzimba kkomera mwe basibira abantu be baba bawambye.

N'omuserikale wa poliisi y'e Kammengo eyali agenze okutaasa abantu be batemye, nze nnamununula nga naye baagala kumutta; bwatyo Balikoowa bwe yategeezezza.

Agamba nti agezezzaako okwogera n'abantu bakolagane ne bannannyini ttaka lye Buyiga abatuufu babawe obusuulu naye Asuman Kiranda abagaana nti alina omunene mu maka g'obwapulezidenti eyabagaana okuwa busuulu era olumu abasoloozaamu ssente nti agenda kuzimutwalira abataase.

Omuwandiisi w'ekyalo kino, Andrew Kaggwa yategeezezza nti DPC we Mpigi yabuzaabuza omusango gw'omutuuze waabwe John Nitunga ekibinja kino gwe kyakoonera ennyumba ne babba n'ebintu bye byonna nga baagala kumutta ne watabaawo akwatibwa ng'ate be bamu abaawamba omuserikale wa poliisi ne bamukuba era ne batavunaanibwa.

Asuman Kiranda gwe balumiriza okukulira ekibinja ekitema abantu yategeezezza nti abakulembeze ne poliisi tebayambye batuuze be Buyiga nga kati beekobaana n'abafere abeeyita bannannyini ttaka lye Buyiga ne batuntuza abantu nga bali wamu ne poliisi.

Ssentebe Mutuluza yategeezezza nti ensonga z'e Buyiga aludde ng'aziwulira era yatumako DPC w'e Mpigi okuzigonjoola wabula nga zirimu olutalo lw'amawanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu