TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emisolo Gavumenti gye yassa mu bajeti gigiremye okufuna

Emisolo Gavumenti gye yassa mu bajeti gigiremye okufuna

Added 26th November 2019

Emisolo Gavumenti gye yassa mu bajeti gigiremye okufuna

 Keith Muhakanizi

Keith Muhakanizi

OMUSOLO ogwassibwa ku ‘Mobile Money' mu bajeti y'omwaka guno gwe gumu ku misolo egitadde Gavumenti mu kattu olw'okulemwa okukuhhaanyamu ssente ze baali basuubira.

Emisolo emirala egireese eddibu mu bajeti nga gikyaganyi okuvaamu ssente Gavumenti ze yali esuubira kuliko; ogwali ogw'okusoloozebwa ku bizimbe ebipangisibwa, emisolo ku by'okunywa nga waragi ne bbiya, ku bakuba amasimu n'emirala.

Kyategeezeddwa nti omusolo Gavumenti gwe yassa ku waragi teguleese ssente nga Gavumenti bwe yali esuubira olw'okuba yawera waragi w'obuveera abamunywa ne bamuvaako ng'afuuse wa buwanana. Kino kirese Gavumenti mu kattu ekiyinza okukosa obuweereza bwayo eri abantu.

Omuwanika w'eggwanga Keith Muhakanizi yagambye nti okuva bajeti lwe yatandika okukola mu July 2019, okutuuka mu October 2019, Gavumenti yali esuubira okukuhhaanya omusolo oguweza obuwumbi 6,071 kyokka ekuh− haanyizza 5,467 zokka nga waliwo eddibu lya buwumbi 603.

Omugatte gw'ensimbi ezassibwa mu bajeti nga zisuubirwa okukozesebwa omwaka gwonna ogw'ebyensimbi zisoba mu buwumbi emitwalo ena. Bajeti yakatambulako emyezi ena. Muhakanizi yabadde ku kitebe kya minisitule y'ebyensimbi ng'ali n'abakungu ba minisitule eno mu Kampala.

Wano we yasinzidde n'ategeeza nti Gavumenti yaweereza disitulikiti n'ebitongole bya gavumenti ebirala ensimbi z'okuddukanya emirimu gy'azo ez'emyezi esatu egitandika mu October 2019.

Omusolo gw'enju ezipangisibwa guleeseewo eddibu lya buwumbi 32 ng'entabwe evudde ku kulwawo kuwa kkampuni ya Ripple Nami Inc kontulakiti y'okusolooza ssente zino.

Olukalala lulaga nti abantu abalina okuwa omusolo gw'ebizimbe ebipangisibwa bali 22,189. Kyokka kisuubirwa nti mu December ensimbi zijja kuba zitandise okukuh− haanyizibwa.

Omusolo gwa VAT n'ogwa ‘Exercise duty' ogwali gusuubirwa okukuhhaanyizibwa gwali gwa buwumbi 2,559 kyokka ne bafuna 1,297 nga guno gwaleeseewo eddibu lya buwumbi 261 Omusolo ku bitamiiza gwakendedde obuwumbi 22, ng'ekimu ku kyagukosezza kwe kuwerebwa kwa waragi w'obuveera n'okugaana okutunda buwaragi mu bipimo ebitono.

Kino Muhakanizi agamba nti kireetedde waragi okuba ow'ebbeeyi n'abamunywa ne bakendeerako. Bbiya asogolwa mu ggwanga yakendeerako liita obukadde mukaaga g'ekitundu. Ate atundibwa n'akendeerako liita obukadde buna.

Ensimbi ezisabibwa abakuba essimu nazo zaakendeerako okuva 5/- buli sikonda ne zidda 3/-. Na kino kyakosezza omusolo ku ssimu ezikubwa. Eddibu eddala lyaleeteddwa musolo gwa ‘Mobile Money' nga gwaleeseewo eddibu lya buwumbi 20.

Omusolo oguwoozebwa ku bintu ebiyingizibwa mu ggwanga gwawezezza obuwumbi 2,318 kyokka nga gwabadde gusuubirwamu obuwumbi 2,497

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...