TOP
  • Home
  • Amawulire
  • NAMAYANJAAba St. Benedict beesunga kivvulu kya Toto

NAMAYANJAAba St. Benedict beesunga kivvulu kya Toto

Added 28th November 2019

NAMAYANJAAba St. Benedict beesunga kivvulu kya Toto

 Nampiima (ku kkono) bwe yabadde akyadde ku ssomero lya St. Benedict e Nansana eggulo.

Nampiima (ku kkono) bwe yabadde akyadde ku ssomero lya St. Benedict e Nansana eggulo.

AB'ESSOMERO lya St Benedict Junior School Nansana abaawangula obukadde obubiri mu kivvulu kya Toto Christmas omwaka oguwedde bakomyewo ate nga beesunga kwongera kuliisa balala kakanja.

Grace Nampiima omukuhhaanya w'akatbo ka Toto era avunaanyizibwa ku kivvulu kya Toto ekitegekebwa buli mwaka e Namboole ekinaabaawo nga December 8, yakyaddeko ku ssomero lino eggulo okutwalira abayizi obutabo bwa Toto. Baamukakasizza nti ku luno bakomyewo na bukodyo bupya era abaneetaba mu kulwanira obukadde obubiri babeerinde.

Nampiima yawerekeddwaako ttiimu okuva mu Vision Group era nga baagabidde abayizi bonna obutabo bwa Toto omuli obuboozi obuwadiikiddwa mu ngeri esikiriza abato okubusoma.

Bano okumanya ekivvulu kino kibali ku mutwe n'okulaga nti kya byafaayo gye bali, baawandiika ebigambo nti, "Bukedde Tv Toto Festival 2018" ekimu ku biraga nti ekivvulu kino bakyesunga era beetegefu okukyetabamu buli mwaka.

Benedict Nganda omutandisi w'essomero lino yagambye nti olw'essanyu lye baafuna nga bawangudde empaka ezaasooka, baasalawo ebigambo okubiwandiika buli muntu w'asobola okubiraba n'okulaga obuwagizi bwabwe eri Vision Group. Wano we yakungidde abazaddde bonna okutwala abaana baabwe mu bungi.

Yayongeddeko nti ensimbi ze baawangula omwaka oguwedde baazikozesa okugula obutoffaali bw'omulujja okugoba ebisooto n'okulinyisa omutindo gw'obuyonjo mu bayizi era eno y'ensonga eyabawaliriza okuwandiikako ebigambo bya ‘Bukedde Tv Toto Festival'. Nampiima yeebazizza Nganda n'essomero lyonna olw'okukozesa obulungi ensimbi ze baawangula ng'ekirabo era n'amusaba okwongera okukuuma omutima ogwo n'enkolagana eyassibwawo.

Yasabye n'amasomero amalala okuvaayo geenyigire mu kwolesa ebitone basobole okwewangulira omudidi. Ekivvulu ky'omwaka guno kissiddwaamu ensimbi aba DStv ne GOtv, Mirinda, The Food Hub, Indomie Instant Noodles, Splash Nira ,Toto ne Vision Group.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...