TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Crypto Currencies banyaze ku bantu bbiriyooni 10

Aba Crypto Currencies banyaze ku bantu bbiriyooni 10

Added 29th November 2019

Aba Crypto Currencies banyaze ku bantu bbiriyooni 10

 Andrew Kaggwa ku mpingu.

Andrew Kaggwa ku mpingu.

Kkampuni enyaze ssente bbiriyooni 10 ku bantu abasoba mu 1,000 mu Kampala ababadde batwalayo ssente nga bazisuubiramu amagoba mu nkola ya ‘crypto currencies'. Crypto currencies nkola ya busuubuzi bwa tekinologiya.

Abakola bizinensi eno bateekawo ensimbi zaabwe nga Bitcoin, Litecoin. Ogenda eri kkampuni ezitunda n'oteekayo ssente z'olina n'akuwa ekinusu ng'okibaliriddemu ssente ezikigyamu. Kkampuni eyanyaze abantu eyitibwa Global Crypto currencies Ltd, ku Lions Shopping Center ku Namirembe Road.

Agikulira Andrew Kaggwa Kulumba yakwatiddwa ekitongole kya ISO. Ate abakozi be mukaaga, baakwatiddwa poliisi ya Old Kampala, dayirekita omulala mu kkampuni eno Hudson Ntende yadduse.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti baakafuna abantu 100 abaakoze siteetimenti ku poliisi ya Old Kampala nga balaga bwe banyagiddwa ssente zaabwe. Abakozi abaakwatiddwa ye Brian Nkata, Juliet Katatsi, Dorah Lakaraber, Rovinsa Nanyonga, Juscent Na- sakku ne Mercy Kembabazi kyokka baayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

Kkampuni eno, Kaggwa yagitandika ne mukwano gwe Hudson Ntende n'ayingiza ne mulamu we Shira Nassali. Ntende yadduse ate Nassali eggulo yavuddeyo n'ategeeza nti naye yanyagiddwa obukadde 29 n'endala obukadde 100 ez'abantu be.

Abalala abaanyagiddwa ssente ye Derrick Aryeija eyafiiriddwa obukadde 15 ate nnyina Mary Nakibuuka obukadde 40, mwannyina Samuel Ssengooba - obukadde 10, Noah Tamale - obukadde 35 n'omulala eyategeerekeseeko erya Susan obukadde 15.

Florence Bukirwa naye akolera mu kkampuni eno yagambye nti ezize obukadde 25 zaalugendeddemu. Yagambye nti ali mu matigga olw'abantu be yayingiza okuva mu kyalo ewaabwe e Zigoti ku lw'e Mityana ne mikwano gye be yasoma nabo abassa ssente mu Crypto currencies abamuyita omubbi eyabadde mu kkoba ane oku tw ala ssente zaabwe.

Waliwo ofiisa wa UPDF akolera mu nkambi e Kakiri (amannya gasirikiddwa) eyafiiriddwa obukadde 181. Sumaya Nakaddu akola ku byensasula mu kkampuni eyo yagambye nti kkampuni yatandika mu 2018.

Akamu ku bukwakkulizo kwe baabaweera emirimu kwe kulaga omuwendo gw'abantu buli mukozi b'agenda okusikiriza okussa ssente mu kkampuni. Bwe yabadde ayogera yatulise n'akaaba n'agamba nti talina mirembe, asiiba mu nnyumba alinga musibe n'amasimu ge bamukubira nga bamubanja gamumazeeko emirembe.

"Nnina abantu bangi be nnasendasenda okuyingira kkampuni eno abo bonna obuvunaanyizibwa babutadde ku nze bagamba nze nanyaze ssente zaabwe," bwe yategeezezza.

Nakaddu yagambye nti bizinensi ebadde ekuze nga balina bakasitoma abasukka mu 1,000 okwetoloola eggwanga lyonna nga bagguddewo n'amatabi amalala 13 okuli e Mukono, Kayunga, Mbale, Mubende, Gulu, Soroti, Masaka ne Kyotera.

Yagasseeko nti babadde basasula buli lunaku era bwe baali batandika baasasulanga obukadde 10 ne balinnya ne batuuka ku bukadde 200 mu myezi ebiri baali batuuse mu bukadde 600 bizinensi n'ekula okutuuka ku bukadde 900 ze babadde basasula buli lunaku. Agattako nti, ebintu byatandise okwonooneka wiiki bbiri eziyise abantu be baabadde balina okusasula obukadde 700 bwe bataafunye ssente zaabwe ne balumba ofiisi ku Namirembe Road nga babanja.

Buli ssente kasitooma z'awaayo abadde asuubizibwa amagoba ga bitundu 40 ku 100.

ENGERI GYE BABBYE ABANTU Annette Irankunda omusawo w'amagye e Bombo y'omu ku babbiddwa. Yagambye nti yataddeyo obukadde 10 ze yeewoze mu Wazalendo SACCO ey'amagye, kuyingira munne gwe bakola naye Sylvia Nagiriinya ye yamusomeramu engeri Global Crypto currencies bw'efuna.

Agamba nti yasooka kutya kubiyingira okutuusa mukwano gwe Nagiriinya bwe yabifunamu ssente n'agula emmotoka, n'agula ne poloti. Yagasseeko nti okuyingira omuntu abadde alina okusasula okuva ku 100,000/- olunaku kyokka osobola okussaayo ezisingawo okusinziira ku busobozi bwo.

Ataddeyo ssente bamusuubiza okumuwa amagoba ga bitundu 40 100 mu nnaku 30. Austin Adife, eyanyagiddwa obukadde 19 yagambye nti, mukazi we akola mu bbanka emu mu Kampala, mu September yamutegeeza nti, akawunti ya kkampuni eyo mu bbanka mw'akolera eriko obuwumbi buna ate kkampuni erina akawunti mu bbanka endala eriko obuwumbi mukaaga.

Kino kyamukakasa nti ebintu bifuna era kkampuni erina omusingi omugumu n'alyoka ateekayo ssente ze. Kyokka ensonda zaategeezezza nti abakulira kkampuni bannyonnyodde poliisi nti okulemererwa okusasula bakasitoma kyavudde ku kitongole kya Gavumenti ekirondoola ensimbi ekya Financial Intelligence Authority (FIA) ekyasibye akawunti zaabwe nga ziriko obuwumbi 10.

Kyokka ensonda mu bbanka zaategeezezza nti obwo bulimba kubanga akawunti za kkampuni okuli mu Centenary bank nnamba 3100058539 n'endala mu Stanbic nnamba 9030015481195, bannannyini kkampuni be baggyeeyo ensimbi.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti banoonyereza ne ku bigambibwa nti Kaggwa ne banne baabadde n'ekigendererwa eky'okutabangula ebyenfuna by'eggwanga. Poliisi ya Old Kampala yagguddewo fayiro nnamba GEF 079/2019 kwe bakuhhaanyiza okwemulugunya kw'abaafiiriddwa ensimbi.

Enkola ya crypto currencies erina obuzibu bw'obutafugibwa Bbanka Enkulu. Okugeza mu Uganda, Bank of Uganda ne Gavumenti tebiriimu ekitegeeza nti bwe bakunyaga tolina gye weekubira nduulu wadde Gavumenti okukuliyirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi esazeewo okuddiza b...

POLIISI etegeezezza nti egenda kuddiza bazadde b'omwana Faith Kyamagero eyattemeddwaako omutwe ne guletebwa ku...

Etteeka eppya ku mmundu lijja

Olukiiko lwa baminisita olwatudde e Ntebe lwe lwasazeewo bino. Era ne lusemba abakugu babage etteeka eppya erimanyiddwa...

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.