
Ebizigo ebikoleddwa mu cukamba ku Prof Bioresearch
CUKAMBA kirime ekiriibwa wano era kitundibwa mu butale wonna, wabula okusinga ayamba okuzimba omubiri olw'ekirungo kya Vitamiini D, C n'eminnyo emirala.
Wabula abasinga bamanyi kuzirya naye ne batamanya nti, osobola okuzikolamu ebintu ebirala okuli ebizigo ebiyamba ku lususu. Kino waliwo abakimanyi nti, ziyamba ku lususu, wabula bazikozesa mbisi ne bazeetimba mu ffeesi. Awo kati ate tuvuddewo ne tukolamu ebizigo by'ogenda okwesiiga.
Jjukira nti, ebizigo abantu bye batera okwesiiga birimu amafuta ga peetulooli ekitali ku bizigo by'okoze mu cukamba.
Wabula era kikulu okumanya nti, omuntu buli ky'oteeka ku lususu lwo wandibadde osobola okukirya kubanga olususu gwe mumwa omunene gw'olina ku mubiri gwo ate ebizigo bino temuli butwa ky'ova olaba nti, bw'onaaba amazzi amabi gasobola okukulwaza naye ate nga toganywedde. ebirungi by'ofuna
1 Ebizigo bino biyamba abantu abalina amaaso agazimba olumu nga gava ku mwenge, puleesa n'ebirala ne bikuyamba okugakkakkanya. 2 Vitamiini C alimu ayamba okulongoosa olususu nga kigoba embalabe, okufuukuuka kw'olususu, asiiyibwa omubiri osobola okukozesa ebizigo bino.
3 Ayokebwa omusana osobola okubikozesa kubanga bikuuma olususu nga luliko akabubi akabikka obutuli bwalwo ekitegeeza nti, luyamba bannamagoye kuba bakosebwa omusana abamu ekibaviirako n'okufuna kookolo w'olususu.
4 Ku baana bibayamba obutafuna ndwadde za lususu.
5 Biyamba ku bantu abaatika emimwa ate tebiriimu butwa ssinga omuntu abirya.
6 Bigoba encaaca kubanga bikuuma amazzi mu lususu ne luba nga terusobola kwatikayatika. 7 Bikola ku nviiri okuzikuuma nga nnamu n'okukula obulungi okwo gattako okuzikola amayengo ate nga bigoba situka.
8 Omuntu afuna ebisukko nga bamumwedde ekirevu oba okumusala enviiri bibaziyiza okubutuka.
9 Alina enkanyanya byesiige kubanga bigonza olususu n'otoba na misittale mu ffeesi, mu mbeera eno bikola ne ku bagole okubafumbirira. Weeteekako ekikuta ky'eryenvu ne kisooka kinuuna obutwa mu mubiri kuba kirimu n'ekirungo kya Bromelain olwo ne weesiiga ekizigo kya cukamba n'oyaka. N'atali mugole kikukolera.
10 Gwe baagaana okukozesa Sulphur, weesiige ebizigo bino kubanga tebiriimu Sulphur era bikola bulungi.
11 Abakozesa sabbuuni w'obuwunga ne bookebwa engalo n'okuvunda enjala, weesiige ebizigo bino kikuyamba. N'akaluba engalo byesiige kubanga bizigonza. Jjukira nti ebizigo bino tubikola mu kikuta kya cukamba ate ekimere kyazo kyo kivaamu omubisi so ng'ensigo zivaamu butto.
Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.