TOP

Kkwiini akooye! Agenda

Added 30th November 2019

KKWIINI wa Bungereza akkirizza okwawuza ku buyinza bwe abuwe mutabani we Omulangira Charles.

 Kkwiini ng’ali ne mutabani we Charles agenda okumuddira mu bigere (ku kkono) ne muzzukulu we William (ku ddyo). Ate owookubiri ku ddyo ye George mutabani wa William.

Kkwiini ng’ali ne mutabani we Charles agenda okumuddira mu bigere (ku kkono) ne muzzukulu we William (ku ddyo). Ate owookubiri ku ddyo ye George mutabani wa William.

Kino kitegeeza nti Kkwiini agenda kusigaza obuvunaanyizibwa butono obutajja kumukuluusanya ku myaka gy'asigazza ku nsi.

Amawulire mu Bungereza gategeezezza nti mu myezi 18, Omulangira Charles (Prince of Wales) agenda kufuulibwa Prince Regent ekitegeeza omulangira Kwini gw'ayawulizzaako ku buvunaanyizibwa. Wabula Charles okulangirirwa nga Kabaka alina kulinda Kkwiini kufa.

Asuubirwa okutandika okukola emirimu gya Kkwiini mu myezi 18 okuva kati. Mu May, 2021, Kkwiini lw'aliweza emyaka 95. Ku myaka egyo 95, bba wa Kkwiini, Omulangira Phillip kwe yalangirira okulekulira emirimu gye mu butongole. Kati alina 98.

Bino biddiridde abantu e Bungereza okwelaliikirira nti Kkwiini ayongedde okunafuwa ate ng'alina obuvunaanyizibwa bw'amaanyi ng'omukulembeze wa Bungereza atakubwako kalulu era nga y'akulira n'olukiiko lwa CommonWealth olugatta amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza.

Kkwiini Elizabeth ll yazaalibwa 1926. Charles agenda okukola emirimu gye, alina emyaka 71, yazaalibwa November 14, 1948.

Wadde Kkwiini tannalangirira mu butongole, azze ayogera nga bw'ajja okuweereza Obwakabaka bwa Bungereza mu bbanga ly'anaamala ng'alina amaanyi.

 kwiini ne bba hilip nga bawuubira ku bantu Kkwiini ne bba, Philip nga bawuubira ku bantu.

 

N'agamba nti yeebaza Katonda okusobozesa bba Philip okuweereza okutuusa ku myaka 95. Era ye bw'aligiweza olwo aliba aweerezza Obwakabaka bwa Bungereza ekimala olwo asigale kusabirira kuwangaala kutuuka ku myaka gya nnyina. Maama wa Kkwiini yafiira ku myaka 100.

Ekya Kabaka oba Kwini okwawuza ku buyinza kyasemba kubaawo my myaka gya 1800, Kabaka George III bwe yakoowa ennyo mu mubiri ne mu bwongo n'alonda omulangira, George IV gwe yayawulizaako obuvunaanyizibwa.

Okwawulizaako obuyinza kyafuulibwa etteeka mu 1937 eryatuumibwa Regency Act 1937. Etteeka era liragira nti Kkwiini bw'anaamala okukirangirira, abantu basatu okuli Sipiika w'olukiiko lwa House of Commons (Palamenti ya Bungereza), Lord Chancellor ne Ssaabalamuzi bajja kumukakasa basse ne mu buwandiike okutuusa Omulangira alisikira eng'oma lw'alituula ku nnamulondo.

Mu nteekateeka y'Obwakabaka bwa Bungereza, Kkwiini bw'alivaako alisikirwa Omulangira Charles ate Charles bw'alivaako alisikirwa mutabani we William gwe yazaala mu Mumbejja Diana.

Olw'abaana ba William balyoke basikire eng'oma nga bwe baddiring'ana mu myaka. Abo bwe balivaako abazzukulu baabwe mwe muliv

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...