TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente 1,470,938,598 okulwanyisa obulwadde bwa TB

Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente 1,470,938,598 okulwanyisa obulwadde bwa TB

Added 1st December 2019

Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente z’okulwanyisa obulwadde bw'akafuba.

 Bebe Cool (ku kkono) nga bamukwasa ceeke.

Bebe Cool (ku kkono) nga bamukwasa ceeke.

Bebe Cool asakidde Bannayuganda ssente z'okulwanyisa obulwadde bwa kafuba. Mu kaweefube gw'aliko okulwanyisa obulwadde buno, Bebe Cool (Moses Ssaali) yasisinkanye n'ayogerezeganya n'abavujjirizi b'ensimbi mu byobulamu abaamuwadde ssente ziyambeko mu kkampeyini gy'aliko okusomesa n'okumanyisa Bannayuganda obulabe obuli mu bulwadde buno, engeri y'okubulwanyisa n'okwewala okubusaasaanya.

Ng'ayita mu kibiina kya Amber Heart Foundation, Bebe Cool ali mu ggwanga lya Vietnam yasisinkanye aba TB Reach abaamuwadde ddoola 398,344 (mu za Uganda 1,470,938,598) zimuyambeko mu kaweefube gw'aliko.

Emyaka ebiri egiyise Bebe Cool yalondebwa ab'ekitongole kya ‘Uganda Stop TB Partnership' (USTP) nga bali wamu ne ‘Geneva Partners United Nations Office for Project Services' (UNOPS) okubeera ‘Ambaasada' wa Uganda mu kaweefube w'okufufuggaza obulwadde bw'akafuba.

Lipooti y'ebyobulamu eraga nti Uganda ekyali mu mawanga 30 agakyasinga okukosebwa olw'obulwadde buno mu nsi yonna.

Obulwadde bw'akafuba bukyali bwa bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda.

Abantu 80,000 be balwala n'okufa obulwadde buno buli mwaka omuwendo oguli waggulu ku 60,000 abafa n'okukwatibwa akawuka ka siriimu.

alt=''

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...