TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayogedde ku ndabika ye: 'Sikaddiye nsaze masavu'

Museveni ayogedde ku ndabika ye: 'Sikaddiye nsaze masavu'

Added 3rd December 2019

PULEZIDENTI Museveni ayogedde ku ndabika ye ennaku zino n’ategeeza nti takaddiye wabula yeesaze amasavu n’akoggamu asobole okusigala nga mulamu bulungi.

Mu bbanga ettono asobodde okukendeera kkiro 30 bw'avudde ku kkiro 106 z'abadde azitowa n'asigaza 76 zokka.

Bino bye bimu ku biri mu bbaluwa pulezidenti gye yawandiikidde Bannayuganda be yayise Bazzukulu be eyabaddeko ennaku z'omwezi December 2, 2019.

Okwekozza yakikoze yekka oluvannyuma lw'okumatizibwa abasawo ku kabi akali mu kubeera n'amasavu agayitiridde mu mubiri.

"Waliwo ababadde balowooza nti ntunula ng'omukoowu. Siri mukoowu wadde kuba okukogga nakikoze mu bugenderevu nga neggyako amasavu kuba abasawo baali tebambuulidde kabi akali mu kubeera n'amasavu amangi mu mubiri," Museveni bwe yagambye.

Yasuubizza nga bw'anaatera okutandika kaweefube w'okusomesa Bannayuganda akabi akali mu mugejjo basobole okubeera abalamu obulungi.

Mu kiwandiiko kye kimu yayongedde okwogera ku kaweefube w'okumalawo obumenyi bw'amateeka, era aliko ebiragiro by'awadde poliisi omuli;

  • Ekifo awatuukira abantu ku buli poliisi kulina okubeerako omuserikale atavaawo ekiseera kyonna. Abantu bwe babeera bafunye obuzibu ono gwe balina okutuukirira ne basobola okuyambibwa mu bwangu ng'ategeeza bakama be bekikwatako ne basobola okugonjoola ekizibu ekiba kiguddewo.
  • Abaserikale ba poliisi balina okukimanya nti balina okukola essaawa 24 olunaku ekiseera kyonna nga bakuuma abantu n'ebyabwe mu bitundu bye bavunaanyizibwako.
  • Nga beeyambisa leediyo z'omu bitundu, abantu balina okumanyisibwa ennamba z'essimu eza poliisi ebali okumpi ze balina okukubako nga waguddewo obuzibu.

Ku nkola ezo waggulu Gavumenti esobodde okugattako kkamera enkessi mu bitundu bya Kampala, Wakiso ne Mukono.

Mu bbanga erinaddako eryemyezi omunaana eggwanga lyonna lijja kuba lirimu kkamera era poliisi ejja kuba esobola okulondoola buli kimu ekikolebwa ku nguudo ennene. Ku makubo amalala bajja kweyambisa obukodyo obwenjawulo.

Pulezidenti era yasuubizza okuleeta tekinogiya agenda okuteekebwa mu buli kidduka ne piki piki era mu kiseera kino abamenyi b'amateeka bali mu buzibu okuli n'abaserikale ababikkirira ebikolwa ebikyamu. Bangi bagenda kukwatibwa, bavunaanibwe awamu n'okugobwa ku mirimu.

Obubaka bwa Pulezidenti yabuweerezza ku mikutu gi mugattabantu gyamanyi nti bazzukulu be tebavaako n'abajjukiza nti ye mwoyo gwa ggwanga.

Yajjukizza bazzukulu be abazze bamulumba olw'okwekubya ebifaananyi ng'ali n'ente ze , n'ategeeza nti kino akikola okulaga abaagala okuyiga nga basinziira ku by'okulabirako . Yatandika okulunda ente mu 1954 ku myaka mwenda gyokka.

Yajjukizza abavubuka nga bwe batalina kulowooza nti bonna balina kukola mirimu gya Gavumenti n'ategeeza nti abaana be bonna ng'oggyeeko Muhoozi tewali yali akoze mulimu gwa Gavumenti.

Amakubo agakoleddwa Gavumenti yageenyumirizzaamu nnyo ng'agayambye okutumbula enkulaakulana kuba kati omuntu asobola okutambuza ebyamaguzi okubituusa mu butale mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...