TOP

Abaana batutte nnyaabwe ku Poliisi lwa ttaka

Added 3rd December 2019

NAMWANDU agambibwa okutunda ettaka ly’ekiggya n’omugabo gwa bamulekwa poliisi emukutte.

 Agamu ku mayumba agagambibwa okubeera ag’abantu abaagula poloti ku ttaka agaatundiddwa.Mu katono ye Nabbosa

Agamu ku mayumba agagambibwa okubeera ag’abantu abaagula poloti ku ttaka agaatundiddwa.Mu katono ye Nabbosa

Abalala kuliko munnamateeka w'omugagga n'omusawo w'ekinnansi gwe baakutte olw'okutwala ebyawongo ku poliisi eyimbule Namwandu.

Bamulekwa b'omugenzi Boogere Muwonge eyafa mu 1992 be baaloopye maama waabwe, Dorothy Nabbosa 60, nga bamulumirizza okutunda ettaka ly'ekiggya n'omugabo gwabwe n'abiguza Yusufu Kiwala, omusomesa ku yunivasite y'e Makerere.

Nabbosa yakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwokuna ne mutabani we, Edward Ssekalaala ne Mukuve Mugaga, munnamateeka w'omuggaga Kiwala eyaguze ettaka.

Omusango guli ku Poliisi y'e Ssekannyonyi e Gayaza ku fayiro nnamba SD REF:20/27/11/2019. Abaana ba Nabbosa baawanyisiganyizza ebisongovu ne baganda baabwe bwe bagatta taata olw'okusibisa maama waabwe .

Patrick Bukenya omu ku bamulekwa, yategeezezza nti baazaalibwa abaana 12 kyokka omusika wa kitaabwe yafa mu 2012 ne basigala 11 nga abataano ku bano Nabbosa si y'abazaala.

Yagasseeko nti ettaka lisangibwa mu kwata zooni mu muluka gw'e Komamboga mu Kawempe nga liweza yiika 8.

Yayongeddeko nti Nabbosa yagabira buli mulekwa omugabo gwe kyokka abaana b'azaala be yasinga okuwa ettaka eddene n'aguza ne Yusuf Kiwala eyakyusizza ekyapa ne kidda mu mannya ge.

Bukenya yagambye nti n'abantu abalala abali ku ttaka nabo baabaguliddemu nga tebategedde. Annyonnyola nti okutegeera nti omugabo gwabwe n'ekiggya byatundibwa, wazzeewo omuntu ayagala okugula ettaka n'abasaba ekyapa kyokka we baakubidde nnyaabwe n'abajuliza omugagga Kiwala nti y'akirina.

Kiwala yabasindise ewa looya we, Mukave ng'eno gye baategeeredde nti ekyapa kyakyusibwa ne kidda mu mannya g'omugagga era ensonga kwe kuzitwala ku poliisi n'ebakwata.

MAAMA WAABWE ANNYONNYOLA

Namwandu Dorothy Nabbosa yategeezezza nti Kiwala y'omu ku baagula poloti ku ttaka lino kwe yazimba amaka.

Yayongeddeko nti yamusaba okwegula n'amuwa ekyapa agende asaleko ekifo kye n'agamba nti naye kyamwewuunyisizza okulaba nga ate ekyapa kyonna kiri mu mannya ge.

 bamu ku baana abaatutte nnyaabwe mu kkooti u ddyo ye abukeera Abamu ku baana abaatutte nnyaabwe mu kkooti. Ku ddyo ye Nabukeera.

 

Yagambye nti kituufu azze atunda poloti wabula omugabo gw'abaana b'atazaala n'ekiggya tabitundangako.

OMWANA GW'AZAALA AMULUMIRIZZA

Jackie Nabukeera 29, omu ku baana ba Nabbosa yategeezezza nti naye abaddeko n'omugabo gwe omuli ennyumba nayo gye baatunze.

Yagasseeko nti nnyina yasooka n'atunda omwaka oguwedde ne batakkaanya naye ekyamuwalirizza okudduka n'asenga e Ndese ku luguudo lw'e Kayunga. 

Douglas Ssentongo, omumyuka wa ssentebe mu Kwata zooni yategeezezza nti tebalina kye bamanyi ku by'okutunda omugabo gw'abaana n'ekiggya kubanga ekyapa kiraga kyakyusibwa mu August w'omwaka guno ne kiva mu mannya ga Namwandu ne kidda mu g'omuggaga eyaguze.

Yagasseeko nti bino we byabeereddewo, omugagga Kiwala teyabaddewo wabula bwe yamukubidde essimu n'akkiriza okutuula n'abaana bateese.

LOOYA YEEWOZEZZAAKO

Mukuve eyabadde yeekweka kkamera z'abaamawulire yategeezezza nti ensonga zino abadde tazimanyiiko era omugagga yamutwalidde ekyapa nga kyaggwa dda okukyusibwa. Mukuvu ye baamweyimiridde ku poliisi.

OMUSAWO W'EKINANSI AKWATIDDWA

John Katongole, omusawo w'ekinnansi e Kasawo baamukutte lubona ng'asuula ebyawongo mu maaso ga poliisi y'e Kanyonyi.

Bwe yakwatiddwa yategeezezza nti yabadde azze kutaasa Nabbosa kubanga aludde ng'amukolera ku nsonga ez'enjawulo. Nabbosa bwe bamubuuzizza oba Katongole amumanyi n'akkiriza nti musawo we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...