TOP
  • Home
  • Amawulire
  • GAV'T yekyusizza ku by'okusanyaawo ebiyiriro bya Murchision Falls

GAV'T yekyusizza ku by'okusanyaawo ebiyiriro bya Murchision Falls

Added 3rd December 2019

GAV'T yekyusizza ku by'okusanyaawo ebiyiriro bya Murchision Falls

GAVUMENTI ekkirizza abakugu okutandika  okunoonyereza ku buzibu obuyinza okubaawo singa naggagga agenda maaso n'okuzimba ebbibiro ly'amasanyala ku biyiririo bya Uhuru ebiriraanye ebirala ebya Murchision Falls ebisangibwa ku mugga Kiyira.

Ebiyiriro byombi  bisangibwa mu  kuumiriro ly'ebisolo by'omunsiko erya Murchison Falls National Park erisangibwa e Bunyoro ne Acholi.

Kkampuni y'e South Afrika emanyiddwa nga Bonang Power and Energy y'eyagala okuzimba ebibiro ly'asanyalaze lino kyokka abantu abatali bamu omuli abalwanirizi b'obutonde bw'ensi,bannabyafuzi,abakola ku by'obulambuzi n'abalala bakiwakanya okukamala..

Gavumenti yasooka kubisimbira kkuuli.mu August 2019 wabula olukiiko lwa baminisita olwatudde mu maka g'obwa Pulezidenti e Ntebe lwakiriza entegeka z'okunoonyereza ku buzibu obuyinza okuva mu kuzimba ebbibbiro lino kutandike. Kkampuni eyagala okussaawo ebbibiro y'egenda okukusasulira.

Minisita w'ebyamasanyalaze Irene Muloni eyabadde ne munne ow'ebyobulambuzi Polof. Ephrahim Kamuntu baagambye bannamawulire mu Kampala nti  baminisita bakirizza okunoonyereza kutandike ng'ekyenkomerero tekinasalibwawo.

Okunoonyereza kugenda kwekulungulira ku biyinza okubaawo ku buttonde bw'ensi,ebyobulambuzi,ebisolo by'omunsiko,eby'obuwangwa, n'ebirala.

Muloni yagambye nti gavumenti eyagala omwaka 2020 wegunatuukira nga Uganda esobola okukola amasanyalaze ga megawati 2500 ky'eva eyagala okwongeza ku bungi bw'amabibiro.

Ate era erina entegeka nti omwaka 2040 wegunatuukira nga Uganda ekola amasanyalaze ga megawati 41,738. Muloni era yagambye nti gavumenti erina entegeka z'okutandika okukola amasanyalaze ga nukiriya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...