TOP

Ono omutamiivu anywa biki ebimuwa amaanyi?

Added 3rd December 2019

KY’ANI kya mutamiivu, ky’ani kya muvubuka. Okwo kwe kusaakaanya okwabadde mu lukiiko lw’ekyalo e Mulago omuvubuka bwe yakubaganye n’omutamiivu eyabadde atabulatabula olukiiko.

 Kanyama nga yeenyoola n’omuvubuka agambibwa okuba omutamiivu.

Kanyama nga yeenyoola n’omuvubuka agambibwa okuba omutamiivu.

Olukiiko luno lwayitiddwa abatuuze b'e Buttakabukirwa okuteesa ku mugagga agenda agula ekyalo kyonna mu kimugunyu n'okuteeka ssentebe waabwe Alex Mugaba ku nninga abannyonnyole ekigenda mu maaso kubanga kigambibwa atera okulabibwea n'omugagga ono.

Ku kuwaanyisiganya ebisongovu, abatuuze baalabudde Mugaba nti be balonzi era kati be baliwo kyokka omugagga gwatiitiibya talabikako.

Olukiiko lwabadde lugenda mu maaso ne zireeta omutamiivu n'atandika okuwoggana n'okwogera ebitakwatagana.

Abantu baamucoomedde abaviire n'agaana kwe kusalawo okukozesa eryanyi kyokka nga naye tagenda n'ekyaddiridde kweriga.

Omuvubuka omu yamulemeddwa batuuze banne ne bamuyambako okumuggyawo okumufulumya. Kyokka waayiseewo akabanga katono n'akomawo ekyatabudde abantu.

Ku luno waliwo omuvubuka ow'ekiwago eyazze n'amusitula n'amukanyuga wabweru. Embeera eno yaleetedde olukiiko okuyiika ne lwabuuka.

Ne ssentebe baamulemesezza okwogera ng'abantu bagamba nti abasinga baabadde bagenze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....