TOP

Ababaka be bamponya okukubibwa Zaake-Nawangwe

Added 3rd December 2019

Ababaka be bamponya okukubibwa Zaake-Nawangwe

OMUMYUKA wa Cansala wa yunivasite ye Makerere, Polof. Bernabas Nawangwe ategeezezza akakiiko akakwasisa empisa nti ababaka ba Palamenti tebaba kumutakkuluzaako  Francis Zaake (Mityana munisipaali) yali amukubira mu bantu.

Yasinzidde mu kakiiko akakwasisa empisa akakubirizibwa Clement Ongalo Obote (Kalaki) n'ategeeza nti Zaake yabulako katono okumukuba ekikonde
era kyali kisa ky'ababaka abaamuwonya okukubwa.

Nawangwe yagambye nti wadde nga yaakayitibwa mu bukiiko bwa Palamenti emirundi egisukka 10, kyokka kye yagwako omwezi oguwedde yali takirowoozangako.

"mu kiseera ky'okuteesa kyonna Zaake yansosonkerezanga ate teyakoma awo n'olukiiko ne bwe lwaggwa era yasigala anondoola wabweru nga bwansongamu engalo nti bwe siva Makerere yali agenda kwongera okukunga abayizi beekalakaase".

Yagasseeko nti ekiraga nti yali amaliridde okumukuba , ababaka abaamala kumuboggolera nti; "Zaake tokikola" nga mu kiseera ekyo omukono gwe gwali gunaatera okumutuuka mu kyenyi.

Nawangwe yagambye nti yawulira ng'aswaziddwa nnyo ng'omuntu ow'obuvunanyizibwa era okuva olwo atya n'okugenda mu kakiiko ka Palamenti konna akalala.

Sipiika Kadaga ye yalagira akakiiko akakwasisa empisa okunoonyereza ku neeyisa ya Zaake omwezi oguwedde olwengeri egambibwa nti teyali yaabuvunanyizibwa gye yali yeeyisizzaamu nga bali mu kakiiko k'ebyenjigiriza. Baali babuuliriza ku kyali kiviiriddeko abayizi okwekalakaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...