TOP

Bakuzizza olunaku lw'abalwadde ba sukaali

Added 5th December 2019

OBULAMU bwe bugagga ensi esaana okulwanyisa ekirwadde kya sukaali nga balya emmere ebayamba okutangira endwadde okusinga lwe banalya eddagala ng’emmere.

 Abeetabye mu kukuza olunaku lwa sukaali nga bakumba n'ebipande.

Abeetabye mu kukuza olunaku lwa sukaali nga bakumba n'ebipande.

Bya PONSIANO NSIMBI

Nga bali mu kaweefube w'okulwanyisa ekirwadde kino mu ggwanga ab'eddwaliro lya lya Dr. Agarwal e Nakasero beegase ku nsi yonna okukuza olunaku lw'abalwadde basukaali.

Olunaku luno lukuzibwa November 18, buli mwaka ng'ebikujjuko by'omwaka guno wano mu Uganda  byatandikidde ku City Square wakati mu Kampala ne bakumba okwetoloola ekibuga.

Dr. Febin . K.M yawadde abantu amagezi okujjumbira okwekebeza basobole okuyambibwa ng'obudde bukyali n'okwewala ebintu ebivaako obulwadde buno.

Abakwetabyemu bakulembeddwa poliisi ne bbandi nga kwabaddeko n'abayizi bamasomero ababadde bakutte ebipande okuli obubaka obulaga engeri omuntu gyayinza okulwanyisamu ekirwadde kya sukaali.

Ekirwadde kya sukaali omuntu akifuna ng'alina sukaali mungi mu mubiri era bwe kiyitirira kinafuya ekirungi kya gulukosi omuntu ky'abeera nakyo okumuwa amaanyi mu mubiri.

Kisobola okunafuya akalulwe akakola ekirungo kya ‘insulin' ekiyambako okutabula gulukosi mu musaayi.

 
 

 

 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...