TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Cryptocurrency babbye abantu abalala mu Kampala

Aba Cryptocurrency babbye abantu abalala mu Kampala

Added 5th December 2019

KKAMPUNI ya Cryptocurrency endala efeze abasuubuzi obutitimbe bwa ssente mu Kampala ababadde bagiddukanya ne badduka ne babaleka mu maziga.

Godfrey Katongole , ssentebe w’abasuubuzi abakolera mu akeedi ng’ayogera n’abamu ku babbiddwa.

Godfrey Katongole , ssentebe w’abasuubuzi abakolera mu akeedi ng’ayogera n’abamu ku babbiddwa.

Kkampuni eno, eya Dunamiscoins eri ku New Park Building mu ppaaka empya kinnya na mpindi ne Lions Shopping Center okwabadde kkampuni ya Global Cryptocurrency Ltd. eyanyaze abantu obuwumbi obusoba mu 10.

Eggulo, abasuubuzi abaafereddwa beeyiye ku kizimbe okuli ofiisi za kkampuni eno nga bakimye ssente zaabwe kyokka kyabamazeeko ebyewungula okusanga nga bannannyini kkampuni baamazeemu dda omusubi.

Baasanzeewo bakozi bokka n'abaserikale ababadde bakuuma ne bayingira munda nga baagala okulaba maneja abawe ssente zaabwe.

Abaserikale ababadde bakuumawo baabalagidde okufuluma wabweru wabula ng'abantu beeyongera bweyongezi ekyawalirizza omu ku baserikale okukuba essasi mu bbanga abaabadde baze okubanja ne babuna emiwabo.

Kino, kyawadde abakozi abaabadde munda omwagaanya okudduka ofiisi ne baziteekako kkufulu.

Abasuubuzi naddala abakolera mu ppaaka empya, Namirembe Road, Ham Shopping Grounds, Kafumbe Mukasa n'ebitundu bya Kampala ebiriraanyewo bakira buli awulira nti babbiddwa ng'akubira ku banne abantu ne beeyongera okuwera.

Ekisinga okwewuunyisa n'okukwasa ennaku, abantu abaafereddwa tebamanyi nnannyini kkampuni eno bbo babadde bakola gumu gwakuwaayo ssente zizaale amagoba.

Abamu ku bakozi ba kkampuni eno, essimu zaabwe baaziggyeeko. Baabadde n'amatabi mu bitundu by'eggwanga eby'enjawuloi okuli Freedom City e Namasuba, Mukono, Jinja n'awalala nga nago gaggaddwa.

ENGERI ABASUUBUZI GYE BABBIDDWA

Okufaanagana ne Global Cryptocurrency, ne Dunamiscoins, babadde basuubiza bakaasitoma baabwe amagoba agabasikiriza okuteekayo ssente.

Shafik Kyeyune omu ku babbiddwa yagambye nti, babadde babasuubiza amagoba ga bitundu 30 ku buli 100 singa oteekayo ssente eziri wakati wa 100,000/- ne 2,000,000/- ate okuva ku 2,000,000/- okutuuka ku 100,000,000/- babadde babawa amagoba ga bitundu 40 ku buli 100. Kyeyune baamubbye 1,000,000/- ng'abadde waakufuna 1,300,000/-.

Fahad Muwonge baamubbye kakadde nga bamusuubizza okumuddiza amagoba ga 300,000/-.

Nelson Tusaasiirwe baamubbye obukadde 42 n'endala 1,300,000/- ate Hillary Mugenyi baamubbye obukadde busatu.

Akulira ekitongole kya ISO Col. Frank Kaka yagambye nti ensnga zirimu abaagala okutabangula ebyenfuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...

Ssentebe wa LC II e Luwero ...

SSENTEBE wa LC II e Luweero yasoose kulaalika babbi ababbye pikipiki ye n'abawa ennaku 10 bagizze we baabadde bagiggye...